
Ssenabulya(kuk kono) n'abatwala ebyokwerinda e Kabowa gye buvuddeko mu kimu ku bikwekweto by'okukwata abatemi b'ennyama abawa bakasitoma babwe ebipimo ebitaweze.
ABATEMI b’ennyama balabudde bannaabwe abateekateeka okutondawo emidaala egimenya amateeka mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo wamu n’okweyambisa amayinja ga minzaani ag’ebicupuli okubba bakasitoma babwe mu biseera by’ennaku enkulu (Paasika).
Bano abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya (ssentebe waakyo) era balabudde bannaabwe obutamala gongeza bbeeyi ya nnyama mu biseera bino. Yagambye nti kino tekikoma ku kulemesa bakasitoma baabwe kubagulako nnyama kyokka wabula kireetawo n’okuvuganya okuteetaagisa okukosa entambuza y’emirimu gyabwe.
“Tugenda kukolaganan’ebitongole byokwerinda okuli poliisi n’abakulira ebitongole ebirondoola omutindo gw’ennyama okukakasa nga bakasitoma baffe bafuna ebipimo ebituufu mu ssente zaabwe n’okukakasa ng’obubbi bw’ebisolo obutera okubalukawo mu biseera by’ennaku enkulu tebubeerawo kubanga kizuuliddwa ng’abamu ku bannaffe abatera okutondawo emidaala egy’ekimpatiira mu biseera bino be babusibyewo,” Ssenabulya bwe yategeezezza ng’ayogerako eri bammemba b’ekibiina kya KABUTA abakkaanyizza ku ky’okutunda ennyama ku miwendo egifaanagana mu biseera bya Paasika.
Yabyogeredde ku ofiisi z’ekibiina kino e Wandegeya ku Lwokusatu era wano abakinjaaji we bakkaanyirizza okutunda ennyama ku bbeeyi ey’awamu (wakati wa 12,000/- ne 13,000/-).