TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba ssente okubawandiisa okufuna densite

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba ssente okubawandiisa okufuna densite

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva eri gavumenti kubanga abantu baffe eno mu byalo tebalina ssente, batuggyako 5,000/- okuwandiisa abaana ne tuwalirizibwa okwesonyiwa eby’okubawandiisa zisobole okukola ku by’okusoma kwabwe.”

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 703x422

Abamu ku bakulembeze b'e Kasawo abeetabye mu lukungaana.

BYA JOANITA NAKATTE

Abakulembeze mu Town Council  y’e Kasawo balumirizza abavunaanyizibwa ku kuwandiisa abaagala densite naddala ez’abaana okubaggyako ensimbi ezigobye abamu mu nteekateeka eno.

Bano okwabadde bassentebe ne bakkansala okuva mu miruka egy’enjawulo abakungaanidde ku ggombolola y’e Kasawo, baaloopedde ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusomesa abantu ku nsonga z’ebyokulonda aba ‘Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda (CCEDDU)’ abaakulembeddwa Lydia Namayengo, engeri abantu baabwe gye bakaluubirizibwa okwewandiisa.

Baakung'aanye okubasomesa ku ngeri gye bayinza okweyambisa obuyinza bwabwe okuteekawo enkolagana ennungi wakati waabwe n’abaabalonda.

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva eri gavumenti kubanga abantu baffe eno mu byalo tebalina ssente, batuggyako 5,000/- okuwandiisa abaana ne tuwalirizibwa  okwesonyiwa eby’okubawandiisa,” bwe baategeezezza.

Baasabye gavumenti okutegekera abatuuze naddala ab’omu byalo, emisomo okumanya obuvunaanyizibwa n’emigaso gya densite olw’abamu okwesuulirayo ogwa nnagagamba okwewandiisa okuzifuna.

Namayengo eyakulembeddemu omusomo guno yategeezezza nga gavumenti bw’ekyalina omulimu ogw’amaanyi okuzuula abaggya ku bantu ensimbi ez’okwewandiisa naddala mu byalo n’abasuubiza okutuusa ensonga eno mu bekikwatako kuba okwewandiisa kwa bwereere.

“Ng’abakulembeze, mwetaaga okukolera awamu okwagazisa n’okukunga abatuuze bamwe okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti n’okubamanyisa ebirungi ebizibeeramu, kino kitwaliramu n’okugitegeeza ku bakola ebikontana n’amateeka agaba gateekeddwawo, eyambibweko okumaliriza amangu enteekateeka zaayo,”Namayengo bwe yagambye.

Ate omubaka akiikirira ekitundu kino, Kafeero Ssekitoleko yasabye bassentebe obutaleeta byabufuzi mu mirimu  kuba bibalemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka