TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Luwalira yennyamidde ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga

Bp. Luwalira yennyamidde ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga

By Benjamin Ssebaggala

Added 18th April 2019

OMULABIRIZI ‘e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira awadde obubaka bw’amazuukira n’alaga okwennyamira ku ttemu erikolebwa mu ggwanga ne bakola okunoonyereza kyokka ne kutavaamu lipooti ennyonnyola.

Archbishopwilberforcekityoluwalirathenamirembedioceseheadrehabilitationmarathonrun2017willbeheldatthenamirembecathderalgroundsonapril2920171 703x422

Teri kubba kutono buli abbye sente z’eggwanga entono n’ennyingi bonna babbi okwo bw’ogattako ekibba ttaka ekiri mu ggwanga wennyamira ate bw’otunuulira ekibba ttaka ekiriwo oyinza okulowooza nti batuukiriza njogera egamba nti bw’okiwakanya obeera olamuza magombe.

Bino Omulabirizi Luwalira abitadde mu bubaka bw’amazuukira bw’aweerezza n’agamba nti okuzza emisango naddala ng’abantu bakozesa kompyuta ne tekinologiya ow’ekikugu byeyongedde  okwo n’gattako abantu abali mu bifo ebyawaggulu mu gavumenti ng’abamu baboogerera amafukuule ne batuuka n’okufiirwa ebifo bye balimu.

Agambye nti abantu bonna ku mazuukira gano basaana okwekwata obubaka Yesu bw’awa mu Yokaana 14:27 EMIREMBE GIBEERE NAMMWE… 

Yagambye nti kyennayamiza okulaba ng’obukuubagano n’akavuyo weekali mu ggwanga ng’abakuumaddembe bakalinamu omukono nga kino kiva ku ntegeka z’okulonda kwa 2021 okusuubirwa eivuddeko enjawukana na buli muntu okweyagaliza yekka ne kivaako obunkenke okweyongera mu ggwanga.

Agambye nti bw’otunuulira ekyagudde ku muliraano e Sudan ne mu mawanga amalala byennyamiza ‘abazira bagudde!’

Awadde abantu amagezi okunywerera ku bubaka Yesu bwe yawa abayigirizwabe ng’amaze okuzuukira buli muntu ayagalize munne emirembe newankubadde nga waliwo amayengo mu bulamu.

Annyonnyola nti ku nsi tewali munnabyabufuzi oba omugagga ffugge yenna ayinza okukuwa obulamu obw’omwoyo okuggyako Yesu Kristo singa obeera ng’osazeewo okumukkiriza n’omuyingiza mu bulamubwo.

Yasabidde abalwadde okuli sipiika Rebecca Kadaga, Katikkiro wa Uganda eyawummula Polof. Apolo Robinson Nsibambi n’Omulabirizi Hannington Mutebi ali mu kujjanjabibwa e Bungereza.

Agumizza abaviiriddwako abaagalwa babawe nga Nabagereka Syliva Nagginda eyafiiriddwa kitaawe John Luswata n’amaka g’omugenzi Nelson Ssebuggwawo bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...