TOP

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako

By Martin Ndijjo

Added 19th April 2019

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro mu famire ye, bakama be n’ekibiina ekikulira abasawo.

Katwe5 703x422

Dr. Agaba ekyabuze. Ku ddyo ly'eddwaaliro lya IHK e Namuwongo.

Dr. Catherine Agaba 26, yavudde awaka ku Ssande ku ssaawa 12:00 ku makya okuva olwo tebannaddayo kumulaba era n’essimu ze teziriiko.

Apangisa Muyenga ku mayumba g’eyategeerekeseeko erya Kamuswaga ku luguudo Kalungi Road okumpi ne siteegi, takisi z’e Muyenga we zikyukira.

Mukulu we, Immaculate Kobusinge abeera e Nansana yategeezezza Bukedde nti Dr. Agaba amaze emyaka esatu ng’asula mu kifo ekyo nga w’ava okugenda okukola ku IHK e Namuwongo.

Omwogezi w’eddwaaliro lya IHK, Peter Mulindwa, yategeezezza Bukedde nti Dr. Agaba baasembye okumulaba ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde lwe yasembye okukola atandike oluwummula okuva nga April 10.

Ku Lwokuna, ab’eddwaaliro baamukubidde nga bamubuuza oba anaasobola okwetaba mu musomo ogwabaddewo ku Lwokutaano nga April 12.

Dr. Agaba yabategeezezza bw’ataggya kusobola kubanga yabadde agenda Mbarara kulaba bakadde be.

Ku Mmande nga April 18, bazadde ba Agaba baakubidde eddwaaliro nga babuuza oba muwala waabwe yabadde ku mulimu kubanga baabadde bamusuubira e Mbarara kyokka baamulinze nga tebamulaba.

Eddwaaliro ensonga lyazitutte mu kibiina ekifuga abasawo ekya Uganda Medical Association ekyafulumizza ebirango ebitegeeza nga Agaba bw’abuze.

Mwannyina Joseph Mugabe ensonga yazitutte ku poliisi y’e Kabalagala eyagguddewo fayiro SD: 110/16/04/2019.

Kyokka Kobusinge yategeezezza nti Dr. Agaba nga tannava waka yasoose kuyomba ne mukyala wa nnannyini nnyumba. Kigambibwa nti Dr Agaba yategeezezza omuserikale akuuma geeti nti agenda kunoonya nnyumba walala tagenda Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako

kumalako na muka landiroodi.

Omuserikale yagambye nti ku ssaawa nga 12:00 ku makya ku Ssande, Dr. Agaba yafulumye ng’akutte akasawo k’omu ngalo ne ka keesi akaliko obupiira.

Okuva olwo tannamanyika gy’ali.

Kobusinge yagambye nti yasembye okwogera ne Dr Agaba nga bategeka kugenda mu kyalo e Mbarara - Kashari kulya ne bazadde baabwe Paasika.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti bambega baagenze omuwala w’abadde asula ne babaako bye bazuula kwe baatandikidde okunoonyereza okulaba nga bamufuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...