TOP

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Siiba 703x422

Abeekalakaasi nga bali ku kitebe ky’amaggye ga Sudan.

Abeekalakaasi e Sudan bagasimbaganye ne Bannamagye abaawambye obuyinza mu nteeseganya ezibasisinkanyizza omulundi ogusoose okuva Bashir lwe yawambiddwa ne babategeeza nti baagala baweeyo bunnambiro obuyinza mu bantu baabulijjo bateekewo Gavumenti ey’ekiseera kyemyaka ena ng’erina palamenti ya babaka 120 ng’ebitundu 40 ku 100 ku babaka ba Palamenti bakyala abasindikiddwayo nga tebakubiddwako kalulu.

Obubaka buno baabutadde mu kiwandiiko ky’emiko ebiri nga baagala wateekebwewo akakiiko akakola ku nsonga za Pulezidenti, baabalaze kabinenti ne Palamenti bwe baagala bifaanane olwo balyoke balowooze ku bukulembeze bwa Gavumenti z’ebitundu.

Baagala batuule wamu n’amagye balonde akakiiko akakola ku nsonga za pulezidenti, palamenti eronde Katikkiro ng’alina baminisita 17, minisitule y’ebyokwerinda n’ensonga z’omunda mu ggwanga bagirekere amagye olwo olukiiko lw’abakugu luteeke ebisaliddwawo mu nkola.

Palamenti ebage amateeka amapya n’okukola ennongoosereza mw’ago agaliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana