TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka avuddeyo ku binyigiriza abantu mu bubaka bwe obwa Paasika

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza abantu mu bubaka bwe obwa Paasika

By Dickson Kulumba

Added 19th April 2019

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe bangi babundabunda n’okusengulwa mu bifo byabwe.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 703x422

Kabaka ng'awuubira Obuganda

Mu bubaka bwe obwa Paasika, Ssaabasajja yennyamidde olw’okuba ng’abasengula abantu be balina obuyinza.

“Okusengula abantu kikolebwa abalina obuyinza bwe tulowooza nti bukozesebwa mu bukyamu. Kino si kye kyaleeta Omulokozi wabula okununula abantu ffenna, alina obuyinza n’atalina”, bwe yategeezezza.

OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU

 

Tuyozaayoza abantu ba Katonda mwenna okutuuka ku Mazuukira g’omwaka guno. Twebaza Mukama olw’ekisa kye ekitusobozesezza okubeera abalamu n’okwongera okumutendereza buli bbanga. Tutuuse ku Mazuukira g’omwaka guno nga waliwo bingi bye twebalizaako Katonda. Ate waliwo n’ebirala bye tumusaba atusaasire tubivvuunuke mu mirembe. Tusaba Omukama atwongere okunyweza obumu mu Bwakabaka ne mu Uganda yonna. Amazuukira gatuyambe okwefumiitiriza ku nsonga y’okubonaabona kw’Omulokozi. Ate naffe kituwe okwebuulirira ku ngeri gye tweyisaamu mu bantu bannaffe, n’okukkiriza okubonabona n’okwewaayo ku lw’abalala, naddala be tuweereza. Buli lwe tujjukira Amazuukira g’Omulokozi, tujjukira okununulwa kwaffe mu buli mbeera. Kye tuva tukubiriza abantu baffe naddala abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ensonga y’okununulwa n’okununula abo bonna be bakulembera okuva mu bwavu, obulyake, obutasoma n’okuyigganyizibwa okukolebwa ku abo bonna abalwanirira eddembe lyabwe mu byobufuzi, ebyenfuna ne mu bulamu obwabulijjo. Tusabe nnyo Omukama, atuyise mu kyeya kye tulimu kati era tukubiriza abantu baffe okubeera obulindaala okusinga awo we kyetaagisiza. Tubaagaliza Amazuukira ag’essanyu n’emirembe. Ronald Muwenda Mutebi II KABAKA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.