TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi: 'Mwolekedde akaseera akazibu'

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi: 'Mwolekedde akaseera akazibu'

By Meddie Musisi

Added 20th April 2019

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula bannabyabufuzi ba Uganda nga bwe boolekedde akaseera akazibu.

Broronnie1 703x422

Bro Ronnie ng'asabira abantu abeetabye mu kusaba

Makabai awadde bannabyabufuzi bano amagezi okwekwasa ennyo Yesu Kristu era bamusabe nnyo asobole okubataasa ku mbeera eno gye yagambye nti Katonda yagimulaze.

Bino Bro. Ronnie yabyogeredde mu kusaba kwe yategese mu kiro ky’Olwokutaano ku Holy City e Bwerenga ku lw’e Ntebe nga kwajjumbiddwa ebikumi n’ebikumi by’abagoberezibe okuva mu bitundu eby’enjawulo.

 bakkiriza abeetabye mu kusaba Abakkiriza abeetabye mu kusaba

“Bwe twali tuyingira omwaka, mujukira bulungi nti nabagamba nga Katonda bw’andaze omukulembeze w’ensi emu atagenda kumalako mwaka guno nga taggyiddwa ku bukulembeze, ndowooza ekyo mwakirabye,” Makabi bwe yategeezezza.

Makabai yalagidde basajjabe ababeera ku kkamera ne balaga abatali mu kusaba kuno ng’awa obunnabbi buno olwo abagoberezi be ne bamukubira emizira egyasaanikidde ekifo kyonna nga bamutendereza okulagula ebintu ne bituukirira.

Yategeezezza nti obuzibu obusinga obuviiriddeko ensi ezisinga okutabanguka, abakulembeze bangi tebakyalina mutima ng’ogwa Yesu Kristu ogw’okulumirwa abantu era n’abafiiririra.

“Musaana mukulembeze omulamwa ogugamba nti “Beera mulamu ofiire mu Yesu Kristu” nga mu kino kitegeeza nti olina okweyisa obulungi nga bwe yali.

 ro onnie ngasabira omukazi wolubuto nabantu abalala Bro Ronnie ng'asabira omukazi w'olubuto n'abantu abalala

Makabai yagambye nti abantu bangi beeyita abakkiririza mu Yesu Kristu naye nga bye bakola bibamuggyako ne baba bagoberezi ba Sitaani.

Mu kiseera kye kimu Makabai yawabudde bannakatemba n’abayimbi obuteemalira mu byabufuzi kubanga kiyinza okutta ebitone byabwe.

Yagambye nti wadde bannakatemba n’abayimbi balina eddembe lyabwe okwesimbawo ku kifo kyonna mu by’obufuzi nti kyokka basaana bamanye nti biyinza okubattira ebitone byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...