TOP

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2019

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Kab1 703x422

Agaba bw’afaanana.

Ng’omuyig Go okuzuula omusawo, Catherine Agaba dokita w’eddwaaliro lya IHK e Namuwongo eyabuze gugenda mu maaso, poliisi eriko dokita omusajja gw’ekutte agiyambeko mu kunoonyereza n’okuzuula amayitire ga Agaba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti bye baakazuula waliwo omusawo omusajja gwe bataayatuukirizza mannya eyasembye okubeera naye nga tannabula. Onyango agamba eyakwatiddwa naye musawo wabula emirimu gye agikolera mu Amerika.

Omusajja ono nga mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y’e Katwe, okusinziira ku Onyango yasembye okubeera ne Agaba ssaawa ttano emabega nga tannaba kubula era bamutebeereza okuba nga alina enkolagana ey’enjawulo ne Agaba era ayinza okuba amanyi gy’ali.

Immaculate Kobusingye mukulu wa Agaba eggulo yategeezezza nti ng’omusajja ono tannaba kukwatibwa yasoose kumukubira ssimu mu budde bw’oku makya n’amweyanjulira nga ‘Andrew’ mukwano gwa Agaba era nti yabadde alabye ekirango ekiraga nti Agaba yabuze. “Olw’okuba simumanyi tetwayogedde kiwanvu.

Olwankubidde essimu yahhambye nti akolera bweru wa ggwanga wabula abadde yakomawo mu ggwanga okukola ku nsonga za ‘paasipoti’ ye. Yagasseeko nti bamanyiganye ne Agaba era okumala ebbanga abadde ayogera naye ku ssimu kumpi buli lunaku wabula yasemba okwogera naye ennaku mukaaga emabega. Nazzeemu okuwulira nti omusajja eyankubidde essimu bamukutte.

Kobusingye era yagambye nti waliwo n’omulambo gw’omuwala eyasangiddwa e Ibanda ng'attiddwa, poliisi yabakubidde, abooluganda ne bagendayo ne bazuula nga si ye Agaba. Yasabye abamanyi omuntu waabwe gy’ali babayambe bategeeze poliisi.

Okusinziira ku booluganda lwa Agaba, yavudde awaka ku Ssande ku ssaawa 12:00 ku makya okuva olwo tebannaddayo kumulaba era n’essimu ze teziriiko. Agaba abadde apangisa Muyenga ku mayumba g’eyategeerekesseko erya Kamuswaga ku luguudo Karungi Road okumpi ne siteegi, takisi z’e Muyenga we zikyukira.

Embeera eno ye yawalirizza aba famire okwekubira enduulu ku ddwaaliro gy’abadde akolera ne ku poliisi y’e Kabalagala gye baggudde omusango gw’omuntu waabwe okubula. Ab’eddwaaliro ensonga baazitutte mu kibiina ekifuga abasawo ekya Uganda Medical Association ekyafulumiza ebirango ebitegeeza nti Agaba bw’abuze.

Eggulo poliisi yazzeeyo awaka Agaba w’abadde asula era Onyango yagambye balina bye bazudde ebiraga nti omusawo eyakwatiddwa ne Agaba balina akakwate.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana