TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2019

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Hab1 703x422

Entaana ya Bbosa baagisiize bimyufu ne Ey’omwana baagisiize kyenvu kyokka akasaalaba ne bakateekamu ebimyufu.

KATEMBA abadde ku kyalo Namuyenje mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono mu kuziika taata n’omwana. Abakungubazi beeyawuddemu ebibinja bibiri; ekimu kye baayise ekya ‘People power’ ate ekirala nga kya NRM.

Kino kiddiridde George Bbosa abadde omuvuzi wa bodaboda ku Romano siteegi okufa oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje bwe yatomereganye n’owa bodaboda omulala.

Muwala we Nalumu ow’emyaka 8 olwawulidde nti kitaawe afudde naye n’azirika ekiddiridde kufa.

Omulambo gwa Bbosa bwe gwabadde guggyibwa mu ggwanika e Mulago, gwawerekeddwa ebbiina ly’aba bodaboda erimanyiddwa nga Nsassagge Group nga bakutte ne bendera emmyuufu okuli ebigambo ‘PEOPLE POWER’. Era bwe baatuuse okumuziika, entaana ye ne bagisiiga langi emmyuufu.

Rose Nakayima, maama wa Bbosa bw’alabye kino naye n’asalawo entaana ya muzzukulu we Nalumu bagisiige langi eya kyenvu kubanga ye wa NRM ate n’omuzzukulu abadde munne nnyo. Abavubuka baasoose kukiwakanya naye ne bamala ne bakkakkana bwe babakkirizza omusaalaba gw’omu ntaana ya Nalumu okugusiiga langi emmyuufu.

Ssaalongo Ntale mukwano gwa Bbosa yagambye nti omugenzi abadde wa kisinde kya People power era kye baavudde bamuziika mu ngeri eno. Nakayima yagambye nti mutabani we abadde musajja mukozi ng’ate talina ky’akola nga tasoose kwebuuza.

Kansala wa Nabuti ku lukiiko lwa disitulikiti, Romeo Augustine annyonnyodde nti ekifo akabenje mwe kaagudde kifuuse akattiro n’asaba abavuzi b’ebidduka okwegendereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana