TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2019

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Lab2 703x422

Ettaka lisaana okusibwako akatimba oba ssengenge okutangira abafere.

OLUVANNYUMA lw’okukulaga obukodyo bwe bayitamu okufera n’okunyaga abantu nga bagoba okufuna ebyapa by’ettaka, olwaleero tutunuulidde amakubo g’osobola okuyitamu n’otanyagibwa ne kalonda omulala gw’oteekeddwa okumanya.

Bw’oba ogula ettaka kirungi gwe kennyini okwetuukira ku ttaka olirambule ng’oli n’omuntu gw’okakasa ategeera eby’ettaka akuyambeko okuzuula ebikyamu. Yogera ne baliraanwa abaliranyeewo ozuule nnannyini gwe bamanyi. Bw’owulira nti liriko enkaayana totawaana kugula.

Nnannyini gwe baba bakugambye mutuukeko oleme kukoma ku bantu be yateekawo okumuyamba. Kyandibadde kirungi ne mutambula naye nga mugenda ku ofi isi z’ebyettaka okuzuula nnannyini omutuufu.

Kirungi nnannyini ttaka n’atambula ne kkopi y’ekyapa eri ‘original’ nga mugenda ku ofi isi z’ettaka. Obutalaba ku kyapa kyennyini kyabulabe, kuba kyangu abafere okukoppako ebiriko ne bookesaamu ekijingirire ne bakikuguza.

Bw’oba osobola ensonga osobola okuzikwasa munnamateeka wo, kuba ensonga zino zisobola okusukkawo bw’obeera tewakaza bwiino. Funa omubalirizi eyeesigika akubalire omuwendo ku bugazi bw’ettaka obutuufu ng’ogenda okusasula stamp duty.

Ssinga olaba abakozi b’ebyettaka nga baagala okukuguza ekyapa ku ssente ennyingi ezitaliiko lisiiti nga bakusuubiza n’obwangu olina okwekengera. Osaanye okufaayo okumanya amateeka awamu n’okubeera n’ebiwandiiko ebyogera ku ttaka oba ebibanja byabwe nga si bijingirire. Weewale okukuuma ettaka ekiseera ekiwanvu nga tekuli kintu. Poloti yo oba ekibanja kyo kakasa nti osimbyeko empaanyi gye kisaliza.

Kirungi okufuna ky’okolerako waleme kubeera nga tekuli kintu, era osobola n’okusibako bbugwe okulyetooloola ng’akatimba, amabaati oba ekikomera. Olina okweggyamu okwetya nga weewala bakayungirizi kuba babbi.

Olina okuyiga okwetuukira mu be kikwatako. Kuno kwolina n’okugatta okuweerera abaana, kuba omuntu abugumiziddwaako tabeera mwangu wa kubuzaabuza. Bw’obeera ogoba ku kyapa olina okufaayo okumanya amannya g’abanene abali mu ofi isi z’ogenzeemu. Kyangu nnyo okukuwa ekiwandiiko okuva mu ofi isi gy’ogenzeemu naye ng’amannya g’omuntu ataddeko omukono yava dda mu ofi isi.

EKYAPA LWE KISOBOLA OKUSAZIBWAMU

Dennis Obbo, omwogezi wa minisitule y’ebyettaka agamba nti Gavumenti erina obuyinza obusazaamu ekyapa ky’ettaka lyonna era nga kizze kikolebwa emirundi mingi ssinga kibeera kizuuliddwa nti kyafulumizibwa mu bukyamu.

Ekyapa kisobola okusazibwamu ssinga kizuulwa nga kyafulumizibwa mu nsobi. Kisobola okuba ng’ebikikwatako bikyamu okugeza we kisaliza. Ssinga ekyapa kibeerako ebiwandiiko ebizuuliddwa nga byajingirirwa.

Ssinga kibeera nga kyafunibwa mu bukyamu nga waliwo emitendera egyabuukibwa. Waliwo emikono gy’abakungu mu ofi isi z’ebyettaka egiyinza okuzuulwa nga gyajingirirwa oba abalala nga baava dda mu ofi isi ekyapa we kyafulumira.

Kyokka kamisona wa Land Registration yekka y’alina obuyinza obusazaamu era nga tekimwetaagisa oluusi okujuliza ensonga mu kkooti. Emitendera egiyitibwamu okusazaamu ekyapa Ng’ekyapa tekinnaba kusazibwamu Kamisona w’okuwandiisa ebyapa alina okuwa ennaku 21 ng’alaalika okusazaamu ekyapa n’okulaga ensonga.

Mu ngeri y’obwenkanya bannanyini kyapa ekiba eky’okusazaamu aweebwa omukisa gw’okuwulirwa. Bwe wabeerawo ekituukiddwaako, Kamisona awandiikira enjuyi zombi ky’asazeewo ku nnannyini omutuufu ekyetaaga okukyusibwa n’ekirala kyonna ky’aba asazeewo.

Ssinga alina ekyapa ekigenda okusazibwamu alemererwa okukitwalira Kamisona, ekiba kisigalidde kulagira ne bafulumya ekyapa ekirala olwo ekikadde ne kisazibwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...