TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukadde 600 nakozesaako 70 endala zambulako - Town Clerk

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala zambulako - Town Clerk

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira bw’amukunyizza mu lujjudde.

Papa 703x422

Rdc Kirabira ng’akunya Kassim.

Kyaddiridde abatuuze okumala ebbanga nga beemulugunya ku Kassim olw’engeri gy’akolamu emirimu gye ekyawalirizza RDC okutuuza olukiiko lw’ekyalo okuzuula obuzibu we buva.

Olukiiko lwatudde ku ssomero lya Lwadda C/U Primary School era lwetabiddwamu abatuuze n’abakulembeze ab’enjawulo.

Bakira Kassim abuuzibwa ng’abatuuze bwe bamungoola ate abalala nga bwe bamulumiriza okukola mu ssente zaabwe ebintu ebitabagasa.

Abatuuze baayongeddeko nti n’enguudo ezikoleddwa nazo bazikoze mu ngeri ya gadibe - ngalye.

Ensonga eziruma abatuuze endala kuliko eddwaaliro ly’e Matugga Health Centre III bali bamanyi nti bagenda kulizimbako ekikomera eky’amaanyi kyokka baalyetoolooza katimba! Amasomero ga Gavumenti mu kitundu tegalina ntebe abayizi kwe batuula.

RDC Kirabira olwatandise n’alagira Kassim annyonnyole ebbanga ly’amaze mu ofiisi y’e Gombe ne by’akoledde ekitundu bukya akwasibwa ofiisi eno.

KASSIM YEEWOZEZZAAKO

Naakamala emyaka esatu mu ofiisi e Gombe, era mu mwaka gw’ebyensimbi 2015/2016 nafuna obukadde 45, ne nzimbako kaabuyonjo y’essomero lya Kitanda Primary School ku bukadde 15, nagulako entebe z’amasomero 68 ku bukadde 17 naye amasomero gye nnazitwala go sikyagajjukira bulungi.

Nnakola oluguudo lw’e Kakerenge okutuuka e Nakamonkome kiromita ssatu ku bukadde 14.

Mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2016/2017, nagula ttanka z'amazzi ssatu ne nziteeka mu masomero ga Gavumenti asatu (3) ku bukadde 18, ne ngula entebe z'amasomero 62 ku bukadde 33, ne ngula ebigoma by’amazzi ku luguudo lwa Rakeri Road okutuuka mu kifo kye bayita mu Kiti ku 8,400,000/- ne nkola oluguudo lwa Mpologoma Road ku10,330,000/.

Mu 2017/2018, nagogola emyala ku luguudo oluva e Matugga okutuuka e Ssanga ku bukadde 16, Nazimba ekizimbe ky’essomero lya Prince Suuna Primary School kimu ku bukadde 53, nazimba oluguudo lw’e Jjagala okutuuka e Busakya ku 41,900,000/-.

Mu 2018/2019, nafuna obukadde 631, ne nneetoolooza akatimba ku ddwaaliro lya Matugga Health Centre III ku bukadde 43, ne nkolako oluguudo lw’e Ssanga okutuuka e Kibugo Kirommita 3 ku bukadde 14 naye ekyamazima, simanyi bwe mba nkyogera naye endala simanyi gye zadda!" Bwe yatuuse wano abatuuze ne bakuba enduulu n’okumukuba olube!

Wano olwamaze okwogera abakulembeze ne bamubakira okwabadde Kansala w’e Matugga, Ronald Kasirivu eyagambye nti ssente ze yakola ku luguudo lwa Mpologoma ayogere ekituufu wa gye yassa ssente kuba alina abajulizi abamanyi ani eyakola oluguudo lw’ayogerako kuba yakwatagana n’omugagga ayitibwa Kyazze eyabayambako okukola oluguudo nga ssente bazisonda mu batuuze naye yeewuunyizza okulaba nga yakozesa obukadde 10 ekintu ky’awakanya.

Kirabira yennyamidde olw’engeri Kassim gy’akozesaamu ofiisi ye kuba be bavumaganya Pulezidenti Museveni. Era nti ensonga eno agenda kugyongerayo ewa Pulezidenti olwo abatuuze bafune obwenkanya n'ensimbi z’omusolo obutabbibwa.

Yasuubizza okukwatagana ne Maj. Edith Nakalema, anoonyerezza ku bakungu ba Gavumenti abakozesa obubi ofiisi zaabwe ng’asinziira mu State House bazuule ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo