TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rev. Ssempangi waakuddamu okuggya abaana ku nguudo

Rev. Ssempangi waakuddamu okuggya abaana ku nguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

Rev. Dr. Keefa Ssempangi eyalabiriranga abaana b’oku nguudo, ng’ayambibwako abamu ku baana be yayamba, ali mu nteekateeka ya kuzzaawo amaka mwe yabalabiriranga,wansi w’ekibiina kye ekya African Foundation.

Zina 703x422

Dr. Keefa Ssempangi.

Ono eyasangiddwa mu maka ge e Wantoni mu disitulikiti y’e Mukono era nga ye yatandika omulimu gw’okuggya abaana ababundabunda ku nguudo, yategeezezza Bukedde ng’abaana abasoba mu 6,000 bwe bayise mu mikono gye ne basoma ne bafuuka abakugu.

Yayongeddeko ng’ ekirowoozo ky’okuzzaawo amaka gano bwe kyavudde mu baana abo, abaakirabye nti nabo beetaaga okukolaganira awamu bayambe abaana abataliiko ayamba nabo basobole okuvaamu omulamwa n’okufuuka nga bbo.

Ssempangi yategeezezza nga bw’asuubira okutongoza eddimu lino mu October omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana