TOP

Abakyala abagagga temunyooma babbammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Hanifa Kawooya akubirizza abakyala abagagga bakomye okunyooma babbaabwe wabula babawe ekitiibwa kuba emabega w’omukyala akulaakulana ebaayo omusajja ow’amaanyi.

Wano 703x422

Omubaka Hanifa Kawooya ng’ayogera ku mukolo gw’abakyala.

Kawooya eyeetuuma, “Yellow Girl” yagambye nti abakyala abamu bwe bagaggawala okusinga babbaabwe babakikinalako n’okubayisaamu olugaayu, kye yagambye nti kinyiiza abasajja, kissa ekitiibwa ky’amaka era kitta n’obufumbo.

Bino yabyogeredde ku Kyankoole pulayimale mu ggombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende ku Lwomukaaga, ku mukolo gw’olunaku lw’abakyala, gye yabadde omugenyi omukulu.

“Nze nnina ssente, era nze ssentebe w’akabondo ak’abakyala mu Palamenti ya Afrika.

Naye bwe ntuuka awaka ekitiibwa ekyo n’engoye ez’ebbeeyi mbyeyambula ne mufukaamirira,” bwe yagambye, abantu ne bamukubira enduulu.

Omubaka omukazi owa Buyende, Veronica Babirye Kadogo eyaleese Hanifa, yawadde abakyala amagezi balekere awo okunoba, bakulekere basajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo