TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Kikyusa mwegatte mugobe obwavu mu maka gammwe

Ab’e Kikyusa mwegatte mugobe obwavu mu maka gammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

Minisita Muyingo akubirizza ab'e Kikyusa mu Luweero okukozesa obumu beegobeko obwavu mu maka

Wanongaminisitadrmuyingoagabiraabamukubakadde50ebintubyapasikaomuliomuceeresabuunibulangitisukaaliwebuse 703x422

Minisita Muyingo ng'akwasa omu kubakadde bulangiti ze yagabye

Bya Madinah Sebyala

Minisita w’egwanga omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu era nga ye mubaka wa Palamenti ow’e Bamunanika  John Muyingo akubirizza ab’e Kikyusa okutwala mu maaso obumu bwe baayolesezza mu kutambuza ekkubo ly’omusalaba okubweyambisa mu kwegobako obwavu  kubanga agali awamu ne galuma ennyama.  

 inisita uyingo ngayogera eri abakadde abafunye ebirabo bya aster Minisita Muyingo ng'ayogera eri abakadde abafunye ebirabo bya Easter

 

Obumu bwe balaze bwe beegatidde mu kibiina kya Kikyusa Joint Christian Council nga baakulembeddwa ssentebe w’ekibiina kino, Rev. Fr. Ronald Kirinya okuva mu Eklesia ya Orthodox ng’ayambibwako Ssaabadinkoni w’e Kikyusa, Rev. Besweri Mulyanti n’abagoberezi ab’eddiini zonna omwabadde n’Abasiraamu abaakulembeddwa  Ssentebe w’eggombolola y’e Kikyusa Abubaker Ssematimba ne batambuza ekkubo ly’omusalaba akabonero akaalaze obumu bwe yagambye nti, basobola okubukozesa ne beekolamu ekibiina okwegobako obwavu.

Agamba nti, obumu bwe balaze ayagala beekolemu ekibiina ky’enkulaakulana olwo naye w’agenda okusinziira okwongera okubasakira ebintu ebinaabayamba okwegobako obwavu era n’abafalaasira obuteesaasira n’abagamba nti, omuntu eyeesaasira tasobola kubaako nkulaakunana gy’atuukako n’abawa n’ekyokulabirako kya Yesu bwe yeetika omusaalaba nga teyeesaasidde y’ensonga lwaki akyajjukirwa.

 bakadde nga basanyukidde minisita uyingo okubawa ebikozesebwa Abakadde nga basanyukidde minisita Muyingo okubawa ebikozesebwa

 

Yabadde mu kkanisa y’e Kiziba - Kikyusa  mu disitulikiti y’e Luweero mu kutambuza ekkubo ly’omusaalaba.  

Oluvannyuma minisita Muyingo bwe yavudde ku by’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba, yagabye ebirabo bya paasika eri abakadde 50 era nga buli kyalo balonzeeyo bannamukisa 10 okuva ku myaka 60 ng’ebyalo omuli Wakivule, Kyakatulo, Kiwamirembe, Ssennyomo B, ne Kabaloge era nga buli mukadde yafunye Bulangiti, emigaati, sukaali, omunnyo, amajaani ne sabbuuni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...