TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze mu maka 1000 e Mukono basattira lwa kusengulwa ku ttaka

Abatuuze mu maka 1000 e Mukono basattira lwa kusengulwa ku ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

Amaka agasoba mu 1,000 e Mukono paasika teyabawoomedde oluvannyuma lw’okulabulwa okusengulwa nga tebabaliyiridde

Nanyinittakamarynagaddyabamuwujjaazirisewebuse 703x422

Nnannyini ttaka Mary Nagaddya nga bamuyoolayoola luvannyuma lw'okuzirika

 

Bya Madinah Sebyala

Omugagga agamba okugula ettaka okuli amaka  agasoba mu 1000 okuli n’akabuga k’e Kalamba alaalise bannannyini bibanja okusengukira  mu bitundu ebirala wadde bannannyini ttaka beegaanyi okumuguza.

 nannyini ttaka ary agadya ngayogera eri abatuuze bwe yabadde tannazirika Nnannyini ttaka Mary Nagadya ng'ayogera eri abatuuze bwe yabadde tannazirika

 

Obunkeke buno buli ku kyalo Nangwa - Namuyenje mu ggombolola y’e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono abatuuze abawangaalidde ku ttaka ly’omugenzi Musoke Ddungu okumala emyaka egisoba mu 40 bwe balabuddwa Twaha Lukwanzi agamba nti yagula ettaka lya yiika 13 okuva ku Moses Kiwanuka  ng’ayagala abatuuze bonna okwamuka ku ttaka lye kubanga ayagala kutandika okulikulaakulanya ng’agamba nti bonna abaliko tabamanyi kuba eyamuguza yamugamba nti tekuli batuuze era bwatyo yaddukidde mu ofiisi ya RDC w’e Mukono Fred  Bamwine  eyalagidde ssentebe wa LC1  w’ekitundu, Charles Lubega amukkirize akube ettaka lye mu bwangu ekyasaanudde abatuuze ne batuuza olukiiko bukubirire.

 itah ngayogera mu lukungaana lwe lumu Ritah Namusoke (omu ku bannannyini ttaka) ng'ayogera mu lukung'aana lwe lumu

 

Ekiragiro kya RDC Bamwine, kyasaanudde abatuuze ne balagira ssentebe obutalinnya mu ofiisi ya RDC wabula bakube olukiiko  bayite ne bannannyini ttaka basalewo eky’enkomeredde balage ne we bayimiridde.

Olukiiko olwatudde mu kabuga k’e Nangwa ku Lwokutaano olwetabiddwaamu abatuuze abasoba mu 1000 nga baayise ne bannannyini ttaka, omukisa baasoose kuguwa ssentebe w’ekitundu annyonnyole oba yabatunda dda nga tebamanyi.

Wabula Mary Nagaddya mwannyina wa nnannyini ttaka ne Rita Namusoke omu ku baddukanya ettaka lino, mu kwewozaako yabategeezezza nti, tebatundanga ttaka lyabwe kuba n’ebiggya byabwe biri.

 sentebe ngayogera eri abatuuze nokubakakasa bwatabalyangamu lukwe kubatunda Ssentebe Ssekikubo ng'ayogera eri abatuuze n'okubakakasa bwatabalyangamu lukwe kubatunda

 

Ssentebe wa LC1, Lubega agamba nti  mu ofiisi ya RDC baamutegeezezza nti Lukwanzi  mutuuze w’e Kenya nga yagula yiika 13 mu 2007 okuva ku Moses Kiwanuka era twagenze okwetegereza nga n’ebyapa byafuluma mu mwaka guno nga January 14 era n’ategeeza olukiiko nti, obuguzi bwonna talina ky’abumanyiiko.

Mu lukiiko olwetabiddwaamu, Ssentebbe wa ggombolola y’e Nakisunga, Mubarak Ssekikubo abatuuze baatadde bannannyini ttaka ku nninga babannyonnyole oba  baabalyamu olukwe ne babatunda, wabula Mary Nagaddya mwannyina w’omugenzi Ddungu Musoke eyali nnannyini ttaka yategeezezza olukiiko nti tebabatundanga kuba nabo ebiggya byabwe biri ku ttaka lino era ne Maj. Joseph Muwanga akulira enkambi y’amagye e Kasijjagirwa naye kwe baamuziika. “Ffe tetulowoozangako kutunda, wabula ono olwamaze okwogera puleesa yalinnye era ne bamuyoolayoola okumuddusa mu ddwaaliro nga yenna anyogoze

 ugusto utenga agamba nti kino kibba ttakka era avumenti ebayambe Augusto Mutenga agamba nti kino kibbattakka era Gavumenti ebayambe

 

 Lwaki babiyingizaamu RDC

Abamu ku batuuze okuli; Wasswa Kakembo, Kiwanuka Kibirango n’abalala bagamba nti RDC avunaanyizibwa okukkakkanya enkaayana ku ttaka naddala okusengula abantu naye lwaki yayise ssentebe w’ekyalo mu ofiisi ye akkirize Lukwanzi okukuba ettaka lye ? Ekirara lwaki RDC yagaanyi okwetaba mu lukiiko olwakubiddwa ku kyalo ate ng’amanyi y’akiikirira omukulembeze w’eggwanga? Oluvannyuma baasazeewo batuuze olukiiko olulala lwetabwemu ne RDC saako ne Maj. Joseph Muwanga balabe ekiddako.

 oses abira serunkuuma agamba nti bagenda mu kkooti era bafunye looya okubawolereza Moses Mabira Sserunkuuma agamba nti bagenda mu kkooti era bafunye looya okubawolereza

 

 Ssentebbe Ssekikubo yakubirizza abatuuze okwebereramu balemese omuntu yenna ettaka okuggyako ng’alina ebintu 4 okuli; ebbaluwa ya DSS, omupunta wa Disitulikiti nga kuliko ne sitampu, ebbaluwa ya RDC ne sitampu, ebbaluwa ya LC III ne sitampu saako n’eya LC1 ne sitampu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana