TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakungubazi bakubaganye empawa ku nfa y'omugagga Kiriggwajjo!

Abakungubazi bakubaganye empawa ku nfa y'omugagga Kiriggwajjo!

By Joseph Mutebi

Added 22nd April 2019

Abakungubazi bakubaganye empawa ku nfa y'omugagga Kiriggwajjo!

Kib1 703x422

Hajji Yunus Kiriggwajjo ng bw'abadde afaanana

ABAKUNGUBAZI abeetabye mu kuziika Hajji Yunus Kiriggwajjo abatemu beebijambiya gwe baalumbye mu maka ge e Najjanankumbi beegasse ku famire okulaga obutali bumativu ku ngeri gye yattiddwaamu. Balumiriza nti abaamusse tebaabadde babbi wabula lulabika lwabadde lukwe olwalukiddwa abantu be aboomunda.

Kiriggwajjo ow’e Najjanankumbi ku Masannyalaze Zooni yatemuddwa abeebijambiya ate be yabadde nabo baalumiziddwa nga bapooca n’ebisago. Wabula abafamire si bamativu ku ngeri poliisi gy’ekuttemu okunoonyereza ku musango.

 iriggwajjo wano yabadde akyali ku kitanda ngaliko kikuba mukono Kiriggwajjo wano yabadde akyali ku kitanda ng'aliko kikuba mukono

Kiriggwajjo yaziikiddwa e Butenga mu disitulikiti y’e Bukomansimbi. “Ffe ng’aba famire tetulabawo kyamaanyi poliisi kye yaakoze mu kunoonyereza bukya omuntu waffe attibwa.

Kubanga okuva ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde abantu be tuteebereza tebannaba kukwatibwa ate abalala be baakwatiddwa,” kkojja w’omugenzi Kiriggwajjo, Hamimu Ssentongo bwe yategeezezza mu kuziika e Butenga. Ssentongo yagambye nti Abasiraamu bazze batemulwa naye tetufuna lipooti mu bujjuvu ezikwata ku kuttibwa kwabwe nga ku mulundi guno baagala okuttibwa kwa Kiriggwajjo eyalumbiddwa mu maka ge e Najjanankumbi wabeewo ekyenjawulo ekikolebwa.

 buliri kwebaatemeddetemedde iriggwajjo Obuliri kwebaatemeddetemedde Kiriggwajjo

Yayongeddeko nti “weewuunya nti mu nnyumba mwe baatemulidde Kiriggwajjo n’abantu abalala basatu ne balumizibwa okuli ne mukyala we Dorah Ibanda tewali luggi lwonna lwe baamenye wadde okusala ebbaati” Ssentongo bwe yeewuunyizza.

Obutemu buno bwabaddewo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ku ssaawa 6:30 ez’ekiro nga Kiriggwajjo yafudde ku Ssande ku ssaawa 9:30 ez’olweggulo. Sheikh Yasin Kiweewa eyakiikiridde Supreme Mufuti yagambye nti omuntu waabwe tebalowooza nti waabaddewo abatemu abaamusse wabula kirabika kyabadde kipange era ng’Abasiraamu bagenda kusaba edduwa ey’amaanyi balabe nga bakwata abaamusse.

Denis Kagoda Chamber alina oluganda ku Ibanda naye yatemeddwa ne yaaya abadde yaakajja mu maka gano Sarah Ahimbisibwe ng’ono poliisi y’e Katwe yamukutte ayambeko mu kubuuliriza.

 ba amire ya iriggwajjo ngabakaaba Aba Famire ya Kiriggwajjo ng'abakaaba

Kagoda agamba nti yawulidde abantu abalaajana mu nnyumba ekiro naava mu muzigo gy’abadde asula oguli ku nnyumba ennene era abasajja babiri olwamulabye ne bamukwata ne bamulagira okwebaka wansi ku ttaka era yagenze okuwulira ng’omusaayi gumuvaamu.

Yagambye nti kyatutte ebbanga ng’abatemu bayingira ennyumba nga bwe bafuluma era yagenze okuwulira nga basimbula emmotoka y’awaka ey’ekika kya Spacio UAU 382R. Baatutte essimu nnya n’ebirala.

N’agamba nti bwe yawulidde nga tewali kanyego n’asituka n’ayingira mu nnyumba gye yasanze Kiriggwajjo ne mukyala we nga bagudde wansi buli omu mu kisenge kye gy’abadde asula nga balaajana.

 maka ga iriggwajjo mwe baamutemedde agasangibwa e ajjanankubi Amaka ga Kiriggwajjo mwe baamutemedde agasangibwa e Najjanankubi
Kagoda yagambye nti yadduse n’ayita poliisi y’e Najjanankumbi eyabatutte mu ddwaaliro e Mengo era enkeera Kiriggwajjo baamuggyeeyo. Mutabani wa Kiriggwajjo omukulu Ssegujja yagambye nti taata waabwe yategedde nti baamutemudde ku Lwomukaaga nga bukya kubanga tasula waka.

N’agamba nti baamuggye mu ddwaaliro e Mengo ne bamutwala mu Platinum Hospital e Wandegeya eno gye yafiiridde ku Ssande ku ssaawa 9:30 ez’olweggulo. Ssegujja yasabye poliisi okussa amaanyi mu kunoonyereza ku nsonga eyavuddeko kitaawe okuttibwa.

Yagambye nti bazadde be babadde n’obutakkaanya nga bwatuukako ne ku poliisi emyaka etaano emabega nga taata we ayagala batunde ennyumba n’emmotoka y’ekika kya Lexus bagabane ssente kubanga baazikola bonna ku kyeyo mu Amerika wabula babadde tebannatuuka ku kukkaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...