TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukadde 60 zifudde ttogge: Ekyuma ekyaluza enkoko Museveni kye yawa ab’e Kamuli kivunze...!

Obukadde 60 zifudde ttogge: Ekyuma ekyaluza enkoko Museveni kye yawa ab’e Kamuli kivunze...!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

GIWEZE emyaka musanvu nga Museveni awadde abavubuka b’omu disitulikiti y’e Kamuli ekyuma ekyaluza enkoko beekulaakulanye. Ku kyuma kino yagattako obukadde 100.

Go 703x422

Kino ky’ekyuma ekivundira mu sitoowa.

Kyokka okuva mu mwaka 2012 lwe baaweebwa ekyuma kino, tekyaluzangayo yadde akakoko! Ekyuma kino ekibalirirwamu obukadde 60 n’omusobyo, kati kivundira mu muzigo gw’omukyala omu ku Muwanga Road mu kibuga Kamuli.

Ku nsimbi obukadde 100 Museveni ze yabawa, okusinziira ku nsonda ezeesigika, abavubuka mu kifo ky’okugula enkoko n’emmere yaazo, baagabana ngabane abamu ne bazinywamu omwenge ate abalala ne bawasaamu abakazi.

Ekyuma kino okutuuka mu muzigo gw’omukyala kati mwe kivundira, zaali ntalo mu bavubuka.

Kigambibwa nti baafuna ebbanja lya bukadde butaano ne zibalema okusasula kati aba Kamuli Municipality Youth Group (KMYP), ekibiina ekikulirwa Henry Kabanda ne bakibowa. Kyokka n’abaakibowa kikyabalemye okukozesa.

EBBANJA LYONNA LIRI MU BUKADDE 8

Ku Lwokutaano, ekyuma twakiguddeko nga kijjudde enfuufu, waya nga zonna emmese zizirumyerumye.

Kabanda eyavuganyaako ku kaadi ya NRM ku bwameeya bwa munisipaali y’e Kamuli mu 2016 n’awangulwa, yannyonnyodde engeri ebbanja lino gye lyajjamu.

Era yagambye nti singa ssente obukadde 5, zisasulwa, ng’ekyuma bakita.

“Twawangula ttenda okukoseza ekyuma twaluzenga obukoko kyokka twasanga kyafa dda. Kwe kutoola obukadde 5 okukiddaabiriza,” Kabanda bwe yagambye.

N’agattako nti ku bbanja eryo ate kwegasseeko eddala erya ssente z’okupangisa ekifo ekyuma kino mwe kikuumirwa nga kati ziweze obukadde 3.5, ebbanja lyonna kwe kuweza obukadde 8 n’ekitundu.

“Twali tutegeka tukitwale tutandike okukikozesa, ate ssentebe w’abavubuka mu kiseera ekyo, Joel Kibikyo n’alagira nti tekirina gye kiraga.

Bwe twabasaba ssente zaffe ze twassaayo ne bagaana naffe ne tukibowa,” Kabanda bwe yawunzise.

Amyuka ssentebe wa LC5 e Kamuli, era nga ye ssentebe wa Kamuli District Farmers Association (KADIFA), Vincent Galisansana, yennyamidde olwa pulojekiti ennene bwetyo okufa ttogge.

Dr. Martin Muwanika, eyali omukwanaganya wa NAADS ekyuma mwe kyayitira, yagambye nti okukibawa, baasooka kumatiza Museveni nti bajja kukikozesa bulungi b’eggye mu bwavu, eky’alema.

SSENTEBE W’ABAVUBUKA AYOGEDDE

Ssentebe w’abavubuka, Julius Mulamba agamba nti naye yasanga ekyuma kyaboyebwa, akakiiko ke ne kayisa ekiteeso ekyuma kikomezebwewo ku kifuba.

“Oyo Kabanda talina ssente z’abanja. Aleete lisiiti z’ensaasaanya tumusasule,” bwe yagambye n’agattako nti, “Ani yamuwa olukusa okuddaabiriza ekintu kya gavumenti?” Dairekita wa Royal College- Kamuli, Robert Bwamiki, yawadde amagezi ekyuma baddemu bakipangise ekibiina oba abalunzi abamanyi eky’okukola, okusinga ekintu okuvundira mu muzigo.

Mulamba yagambye nti baasaba poliisi ebiyingiremu naye teri kavaayo. Omukwanaganya w’abavubuka ku disitulikiti, Richard Lugada yagambye nti eby’abavubuka bizibu kuba ne ssente za Youth Livelihood Program (YLD) tamanyi kye zaakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...