TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owebyokwerinda atulugunya abantu bamugobye ku LC

Owebyokwerinda atulugunya abantu bamugobye ku LC

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

Abaakakiiko ka LC bagobye owebyokwerinda lwa kwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. Bakkiriziganyizza ne basaba poliisi emukwate bunnambiro kuba asussizza okukola ebikolobero omuli n’okukuba banne.

Bow 703x422

Miiro gwe baagobye.

Bino biri mu zooni ya Nsimbiziwoome mu Bukoto II abakulembeze ba LC 1 ekulemberwa Joan Akiiki Kasirye bwe baatuuzizza olukiiko olw’amangu ne basalawo okugoba Elphas Miiro.

Olukiiko luno olwatuuziddwa ku ssomero lya Bukoto Muslim Primary School lwetabiddwaamu abakulembeze okwabadde Meeya Ronald Balimwezo Nsubuga, kansala w’ekitundu e Nakawa Samuel Kisami, ssentebe wa LC II Rashid Kawaawa ne poliisi okuva ku Kira Road ne Ntinda.

Olukiiko luno Miiro teyalubaddemu wabula ssentebe Akiiki yamulumirizza okwenyigira mu bikolwa ebimalako abatuuze emirembe ekiro n’emisana nga kw’ogasse n’ab’omu maka ge.

Kigambibwa nti olumu yaggyirayo mukyala we ekiso kyokka bwe yakiwuuba ne kikwatamu mutabani we omukono.

Era omusango guli ku fayiro nnamba CRB 109/2019. Eddie Semitego omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo ku poliisi ya Kira Road yeewuunyizza engeri Miiro gye yalondebwa ku kakiiko ate nga yali yagobwa olw’empisa ze embi abatuuze ze baali bamanyi obulungi.

Ono yatadde Akiiki ku nninga annyonnyole engeri gye yazza omusajja ono ku lukiiko. Akiiki yategeezezza nti bwe yawangula akalulu (Akiiki), abamu ku batuuze be baamuwaliriza okuwa Miiro ekifo ky’ebyokwerinda era bwe yamulonda waaliwo okujaganya kwa maanyi.

Semitego yategeezezza olukiiko nti mu 2016 Miiro yaggalirwa mu nkambi y’amagye e Makindye okumala emyezi esatu oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye.

Yagasseeko nti alina n’omusango ku poliisi e Ntinda ogw’okwonoona ebintu by’ebaala y’omutuuze gwe yazza mu March.

Meeya Balimwezo yabawadde amagezi okukola lipoota ku musajja ono.

Akulira poliisi y’e Ntinda yakakasizza okukwatibwa kwa Miiro nti era omusango gwe guli ku fayiro nnamba CRB 109/2019 ku poliisi ya Kira Road era waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...