TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Munnakatemba awangudde obwapulezidenti bwa UIkraine

Munnakatemba awangudde obwapulezidenti bwa UIkraine

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

MUNNAKATEMBA ow’erinnya mu Ukraine Volodymyr Zelensky aseerezza ligenda mugga mu kalulu k’okuddamu okulonda Pulezidenti w’eggwanga lino bw’amezze Pulezidenti abaddeko n’enkoona n’enywa.

Afp1fs4tge1555699621949 703x422

Volodymyr Zelensky eyawangudde obwapule\zidenti e Ukraine ng'ajaganya

Zelensky 41, yakoze ekyafaayo ku Ssande bwe yalangiriddwa ku buwanguzi wadde nga talina mukululo mu byabufuzi era tabadde na ntegeka nambulukufu gy’alaga ey’okukulaakulanya eggwanga.

Lyabadde kkonde ddene nnyo eri pulezidenti abaddeko Petro Poroshenko.

Ebyafulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda byalaze nti Zelensky yafunye ebitundu 73 ku 100 ate Poroshenko n’afuna ebitundu 25 ng’obulala bwabadde bufu.

Kazannyirizi ono abadde amanyiddwa olw’okulabikira mu buzannyo obulagibwa ku ttivvi mwabadde azannyira nga Pulezidenti.

Abadde alaga nti ye Pulezidenti afaayo ku bizibu by’abantu. Kye yali tamanyi nti eby’okugeegeenya obwapulezidenti ekiseera kijja kutuuka bituukirire.

Ebimu ku bisuubizo bye yawadde nga yaakalangirirwa mulimu okukomya obuli bw’enguzi n’olutalo oluli mu kitundu ky’obuvanjuba bw’eggwanga eryo awamu n’okussa emiwendo gy’ebintu egiri waggulu. Kyokka teyalaze nkola z’agenda kuyitamu.

Okulonda kuno kwaddiddwaamu oluvannyuma lw’okwasooka era okwali kuwanguddwa Zalensky obutaweza bitundu 50 ku 100 ebyetaagisa mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana