TOP

Bashir bamubuuzizza ku bisawo bya ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

BANNAMAGYE abaawambye Gavumenti ya Sudan batandise okukunya abadde mukama waabwe Field Marshal Omar El Bashir okumwogeza engeri gye yafunamu obukadde bwa ddoola za Amerika 130 ezaasangiddwa mu maka ge.

5cb7948f7aa3a 703x422

Kiddiridde abeebyokwerinda okwaza amaka ga Bashir ne bagwa ku butitimbe bwa ssente nga azikukuliddwa mu maka ge.

Ensimbi zaabadde mu bika byanjawulo okuli; Euros, doola ne Pound za Sudan nga zonna awamu ziweramu obukadde bwa Amerika 130 ezenkana ne Pounda za Bungereza 100.

Omuwaabi wa Gavumenti ye yaweereddwa eddimu ly’okukunya Bashir mu kkomera lye Kobar gye yaggalirwa nga baagala annyonnyole gye yaggya obuyinza okubeera ne ssente ennyingi bwe zityo.

Ensonda zaategeezezza omukutu gwa CNN nti ssente zaasangiddwa nga ziterekeddwa mu kkeesi ezitera okuterekebwamu engoye.

Waliwo ebifaananyi ebyakubiddwa nga biraga ssente zino nga zimaze okupakirwa mu bukutiya bwa kkiro 50.

Obukutiya bwabadde bukuumibwa butiribiri abaserikale ba Gavumenti.

Ku Lwomukaaga bannamagye baategeezezza nti bagenda kuteekawo akakiiko akeetengeredde kabuulirize ku bantu bonna abazze beenyigira mu kulya enguzi n’okwekomya ssente za Gavumenti.

Akakiiko kano kasuubirwa okubowa ebyobugagga ebyali byanyagibwa n’okusiba bonna abaali baabyezza n’okukakasa nti waakiri bitundibwa ku nnyondo ssente ziddeyo mu Gavumenti.

Bashir okuva lwe yaggyibwa mu buyinza nga April 11, 2019 oluvannyuma n’atwalibwa mu kkomera lye Kobar tatwalibwanga mu kkooti y’amateeka kuvunaanibwa.

Wadde nga Kkooti y’Ensi Yonna yamuyisaako dda ekibaluwa kibakuntumye olw’okwenyigira mu kittabantu ekyali e Darfur, bannamagye bagamba nti tebalina ntegeka zimuwaayo.

Bw’anaba waakuvunaanibwa baasuubizza kumuwozesereza mu kkooti munda mu Sudan.

Abaali banywanyi ba Bashir obudde bweyongera kubaddugalira buli olukya olw’engeri gye bakwatibwamu.

Abamu ku bakyasembyewo okukwatibwa kuliko; Ahmed Haroun eyakulemberako ekibiina kya Bashir, eyali omumyuka wa Pulezidenti Ali Osman Taha n’eyali Sipiika wa palamenti Ahmed Ibrahim al-Taher.

ABEEKALAKAASI BAKYAGAANYE OKUKKIRIZA BANNAMAGYE

Wadde nga bannamagye bafubye okusanyusa abeekalakaasi nga bakwata Bashir, okukwata baganda be, okugoba abakungu ba Gavumenti n’ebirala, balabika basiwa nsaano ku mazzi.

Abeekalakaasi bakyagumbye wabweru w’ekitebe ky’amagye era bawera nti tebajja kudda mabega okutuusa ng’obuyinza bumaze okuweebwa abantu baabulijjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...