TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Abaafudde mu Sri Lanka ku Paasika baweze 300

Abaafudde mu Sri Lanka ku Paasika baweze 300

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu bbomu abatujju ze beetulisirizzaako mu Klezia ssatu ne wooteeri nnya mu Sri Lanka gulinnye. Kati bali 300 ate abalala abasukka 500 bapooca n’ebiwundu. Obulumbaganyi buno bwabaddewo ku Ssande ng’abagoberezi ba Kristu bali mu Mmisa ku mazuukira.

Srilanka5zper190421hpmain125992 703x422

Omuduumizi wa poliisi mu Sri Lanka, Ruwan Gunasekara yategeezezza omukutu gwa CNN nti omuwendo gw’abaafudde gwabadde gulinnye okuva ku 198 ne bawera 300.

Gavumenti ya Sri Lanka yalangiridde nti olwaleero (Lwakubiri) lwakukungubaga mu ggwanga lyonna nga bajjukira abantu abaafiiridde mu bulumbaganyi.

Engatto z’abantu abaabadde badduka ekibambulira zikyabunye ebifo byonna. Kuno kwogatta n’ebitaba by’omusaayi ogwabunye ebifo byonna.

Okumanya ng’okubwatuka kwabadde kw’amaanyi ennyumba eziriraanye ebifo awaatulikidde bbomu zaayatise endabirwamu ne ziyiika ng’oyinza okulowooza waliwo eyazikoonye.

Amadirisa agaabadde mu Klezia ne wooteeri zonna gaabuseemu era gaasangiddwa geesudde akabanga.

Gavumenti ya Sri Lanka erangiridde bw’egenda okuliyirira famire z’abaakoseddwa zonna omuli okusasulira eby’okuziika n’okutambuza emirambo.

Abaasimattuse n’ebisago nabo bagenda kubeerako omutemwa ogubasasulwa. Amasinzizo gonna agaayonoonese nago Gavumenti yasuubizza okugaddaabiriza ku ssente zaayo.

Agongedde okuzuuka ku baafudde galaga nti kwabaddeko bannansi ba Bungereza munaana.

Emirambo egimu baatandise okugiziikia nga waliwo abafamire abaasazeewo okugiziika awamu okumpi ne Klezia ya St. Sebastian Church.

Mu kuziika abantu baasimbye ennyiriri emabbali g’ekkubo nga bwe batunuulira ssanduuke eyabadde mu langi ya kiragira omwabadde muteereddwa emirambo egyakubiddwa bbomu nga si kyangu kugyawula Tewali kibinja kyavuddeyo kwewaana okubeera emabega w’obulumbaganyi buno.

Bbomu nnya ze zaasoose okubwatuka n’endala ebbiri ne zibwatuka oluvannyuma lw’essaawa bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.