TOP

Abatemu basse omuwala lwa nnusu 500/-

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

Abatemu balumbye omuwala mu nnyumba ye ne bamutta. Asia Naikoba, 26 ng’abeera Wampala mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ye yattiddwa mu kiro ekyakeesezza Paasika.

Vere 703x422

Omulambo gwe gwazuuliddwa baliraanwa be ne bba bwe baamenye oluggi lw’omuzigo mw’abadde asula.

Abatuuze baategeezezza nga bwe baasembye okumulabako ku Lwomukaaga akawungeezi ng’ava kugula nkoko gy’anaalya ku Paasika.

Omukyala eyategeerekese nga Ssenga Annet yategeezezza nti, “Nze akawungezi k’eggulo nnalabye Naikoba ng’ali ne Ibanda era olwamubuuzizza obumuluma, n’akyama we nkolera n’antegeeza ng’abasajja ababiri be yabadde nabo bwe bamukanda ssente nnusu 1,000/- ng’alinawo 500/- era ne mmuwa 500/- ebirala era olwazimuwadde n’aziwa Ibanda olwo omugenzi n’akwata enkoko ye n’agenda ewuwe wabula Ibanda ne munne baasigadde bamugoberera,” Ssenga Annet bwe yagambye.

Abaserikale ba poliisi okuva e Nakibizzi n’e Njeru baakutte Gerald Ibanda, 25, ne Steven Kato ne baggalirwa ate omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Jinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...