TOP

Batemye omuvubuka ejjambiya ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Kitemamasanga mu Ggombolola y’e Makulubita-Luweero bwe bagudde ku mulambo gw’omuvubuka ng’attiddwa mu bukambwe.

Today 703x422

Abatuuze nga batunuulira omuvubuka eyattiddwa.

William Nyombi, 28, abadde abeera Katiiti era nga kigambibwa gye yavudde ku pikipiki ye okujja mu bitundu eno okumpi n’e Semuto gye baamuttidde.

Kansala Patric Kisekwa omukiise wa Makulubita ku disitulikiti, agamba nti amawulire gano gaatandise okutambula ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro nga gategeeza nga bwe waliwo omuntu eyattiddwa mu okumpi n’ekisenyi ky’omu Kitemamasanga n’alekebwa awo ne pikipiki ye UDN 225N era enkuba n’emuggweerako.

Kkojja w’omugenzi, Eriab Ssebuliba (musajja wa Kabaka), yategeezezza nti okutemulwa kwa Nyombi bwe kwandibaamu enkaayana ku bibanja byabwe ezirudde. Nnyina Grace Nakamatte omutuuze e Kagembe ono bakira akaaba alayaziirana ng’aomwana we bwe bamulanze obwemage kuba abadde wa ddembe.

Ettemu lwabaddewo mu kiro kya Ssande (ku Easter) mu Kitemamasanga. Ayogerera poliisi mu bitundu bya Savana, Paul Kangavve akakasizza ettemu lino ly’agamba nti kirabika baakozesezza jjambiya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...