TOP

Omusuubuzi w’e Masaka bamussizza masasi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

Lawrence Jjagwe 40, omusuubuzi omututumufu e Kirumba Masaka abadde atera okuggalawo edduuka lye ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro n’avuga pikipiki ye okudda ewuwe, kyokka olwa ssente eziwerako ze yatunze ku Paasika, yasazeewo annyuke nga bukyali ku ssaawa 4:00 adde ewaka alyeko Paasika n’abaana be abasatu!

Magere 703x422

Nnamwandu Scovia Nakitende (ku ddyo) nga bamukwatiridde. Mu katono ye mugenzi Jjaggwe bw'abadde afaanana

Eby’embi abatemu b’emmundu nabo baabadde bamulindiridde okumunyaga obusente bwe yabadde akozeewo olunaku olwo ne bamusasira amasasi asatu mu mugongo ne bamutta ng’aggalawo edduka lye.

Ettemu lino lyabadde mu Zooni ya Kirumba mu Ggombolola y’e Katwe Butego mu kibuga Masaka era ng’ettemu we lyakoleddwa lyabadde kinnya na mpindi n’amaka ga RDC wa Masaka, Herman Ssentongo!

Kigambibwa nti bano baabadde balina we beekwese era olwalabye Jjaggwe ng’aggalawo kwe kugenda butereevu w’ali ne batandika okumukanda ssente ze yabadde atunzeewo era mu kubeekanga n’agezaako okudduka ne bamusindirira amasasi asatu mu mugongo n’agwa mu mulyango gw’edduuka lye we yafiiridde.

Bano abagambibwa nti baabadde bana okusinziira ku baabalabyeko, bagamba nti bwe baakubye Jjaggwe amasasi, ababiri baayingidde munda ne batandika okuggya ssente mu seefu ate ababiri ne basalako oluguudo oluva mu kibuga Masaka okudda mu Kirumba oluyitamu ne RDC olwo ne batandika okunyagulula buli muntu okwabadde n’abatambuza ebigere n’obupikipiki obwabadde butambuza abasaabaze ababadde badda awaka.

Kigambibwa nti kino kyatutte eddakiika nga 20 ng’abanyazi bano abaabadde n’emmundu nga beekaaliisa n’okunyaga obuduuka obulala.

Amasasi ge baakubye Jjagwe gaavuze era omukuumi wa RDC, Ssentongo awaka ne yeekengera ekyabadde kigenda mu maaso n’okuwulira abantu abaabadde balaajana olwo n’atandika okuwandagaza amasasi mu bbanga agaakanze abanyazi ne balinnya pikipiki zaabwe ne beeyongerayo.

RDC Ssentongo yatuuseeko mu kifo we battidde Jjagwe ne yennyamira olw’obunyazi bw’emmundu kati obufuuse baana baliwo mu bitundu by’e Masaka n’agumya abantu nti abeebyokwerinda baakukwata abaakoze ekikolwa kino.

Poliisi y’e Masaka n’amagye ga UPDF bayiiriddwa mu bungi oluvannyuma lw’ekikolwa kino okugezaako okugwa mu buufu bw’abanyazi bano kyokka mpaawo yakwatiddwa. Poliisi oluvannyuma omulambo gwa Jjagwe yagututte mu ggwanika ly’eddwaaliro e Masaka ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Jjagwe abadde mutuuze ku kyalo Bulando-Kidda okumpi n’ekibuga Masaka era ng’agenda kuziikibwa ewaabwe ku kyalo Kitamba mu disitulikiti y’e Kalungu.

ABADDE ATEGEKA MBAGA

We battidde Jjagwe ng’ateekateeka kugattibwa ne mukyala we, Scovia Nakitende nga babadde baakatuula mu lukiiko lumu era nga bategeka okukola omukolo mu July w’omwaka guno.

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Lameck Kigozi yategeezezza nti, abatemu bano baalabirizza abaserikale baabwe abaabadde bataambulira ku paatulo nga baakava okulawuna ekitundu kino ne bakola obulumbaganyi buno.

Yagasseeko nti bafunye okusoomoozebwa kungi ku bunyazi bw’emmundu obw’enjawulo e Masaka kyokka ng’oluvannyuma basobola okufuna abo ababa babwenyigiddemu n’ategeeza nti n’abaakoze kino bajja kukwatibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...