TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya 'Togikwatako': Ayagala basazeemu ensala y'abalamuzi 3

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya 'Togikwatako': Ayagala basazeemu ensala y'abalamuzi 3

By Benjamin Ssebaggala

Added 23rd April 2019

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi basatu gye baawadde mu kujulira ku kuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu ayagala okwesimbawo ku bwapulezidenti.

Malemabiriizi9 703x422

Male Mabirizi ng'ali mu kkooti

Mabiriizi mu musango gw’atutte mu kkooti ensukkulumu, ayagala esazeemu esala ya Ssabalamuzi Bart Magunda Katuleebe, Stella Alachi Amoko  ne Jotham Tumwesigye. 

Ensonga Mabiriizi kwe yeesigamye ng’awaaba, etteeka liragira nti Omulamuzi gw’abeera mulwadde mu mubiri obwa mu bwongo takkirizibwa kuwulira musango n’aguwaako ensala.

Ssabalamuzi Katureebe yasinzidde mu kkooti n’ategeeza nti yabadde mulwadde ng’amaaso gamuluma ng’ategeka kuddayo mu ddwaliro bamulongoose.

Ategeezezza nti Katureebe ne Museveni baamukwano nnyo era kino kyawaliriza Katuleebe okusenguka gye yali abeera e Nyrugulu n’adda e Kiruhura nga kati muliraanwa wa Museveni.

Bw’akyukidde Omulamuzi Amoko n’ategeeza nti ono bba Amoko Idule ye mubaka wa Uganda mu mukago gwa African Union ekitegeeza nti mukyalawe yali tayinza kusalira Museveni musango ne gumuzinga ng’ate yeeyawa bba omulimu, Ng’atuuse ku Mulamuzi Tumwesigye, agambye nti ono mukwano gwa Museveni nnyo gw’aludde nga bakolagana era siniya baasoma bonna mu Ntare School.

Kkooti ensukkulumu eyatudde e Kololo nga April 18, 2019 Abalamuzi okwabadde Ssabalamuzi Bart Katureebe, Jotham Tumwesigye, Rubby Opio Aweri ne Stella Arach Amoko baagobye okujulira nga bagamba etteeka lyayisibwa mu butuufu.

Abalala okuli; Paul Mugamba, Eldad Mwangusya ne Lillian Tibatemwa-Ekirikubinza baasaze nga basazaamu ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka nga bagamba nti okuggya ekkomo ku myaka kyali kikyamu.

Omusango Mabirizi aguwaabye ku kkooti ensukkulumu e Kololo n’ategeeza nti erina Abalamuzi 11 basobola okwerondako musanvu bokka ne bawulira okusaba kwe era singa abasatu baawawaabira banajja okugutuulamu waakukiwakanya.

Amyua omuwandiisi wa kkooti Godfrey Opifeni yaayingizizza omusango gwa mabiriizi mu bitabo bya kkooti. Alinda lunaku kwe banaaguwulirira wabula asabye baguwulire mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...