TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira: UPDF eraarise okubakwata

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira: UPDF eraarise okubakwata

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi.

Throw 703x422

Muwadi (ayimiridde) ng'ayogerako eri abavubi mu lukiiko lwe baakubye okusomesebwa ku nvuba embi.

Mu bikwekweto ebigenda okukolebwa mulimu okwasa n’okwokya amaato agataweza ffuuti 28, okufuuza abavubisa obutimba obukyamu, okuwandiisa amaato n’okugassaako ennamba n’okuwa abavubi layisinsi.

Amawulire gano gasattizza abavubi era abamu batandise n’okwamuka emyalo, nga batya abajaasi abakulirwa Lt. Col. James Nuwagaba.

Abakulembeze ba disitulikiti ezeetoolodde Kyoga nga bakulemberwa ba RDC, batandise okugenda ku myalo okutegeeza abavubi nti UPDF esonze, n’okubasomesa ku byetaagisa okukolebwa.

Disitulikiti zino kuliko Apac, Amolatar, Kumi, Soroti, Palisa, Bukedea , Kaliro, Buyende, Nakasongola, Masindi n’endala.

Wiiki ewedde, ab’e Buyende nga bakulembeddwa RDC, Can Richard Ogwang Odyero baatandise okutalaaga emyalo nga balaalika abavubi beetereeze.

“Tuzze okubategeea nti UPDF etuuka essaawa yonna. Ennyanja mwagitta, y’etaaga kuzuukusa,” Ogwang bwe yagambye ng’ali ku mwalo gw’e Lyingo mu ggombolola y’e Kagulu.

Akulira eby’obuvubi mu Buyende, John Muwadi agamba nti ennyanja yafuuka kidiba nga ky’ava ku kuba nti omuwendo gw’abavubi gwayala, buli kiseera baba bavuba wakati mu kukozesa ebitimba ebikyamu.

ABAVUBI BALAAJANYE

Bino byakubye wala abavubi ne balaajana nti baalibalese ne bayita mu biseera bino eby’enjala n’obwavu kuba ennyanja gye batunuulidde.

Ssentebe wa Bukungu Town Council, Emma Segujja Kabenge, yagambye nti kino ky’egasse ku kizibu ky’ekiddo ki 'Nankabirwa' ekyazingako Kyoga.

Yannyonnyodde nti ennyanja y’ebayimirizzaawo kubanga okuva mu December tebafunanga ku nkuba.

Marion Jones Itengesha, ow’oku mwalo gw’e Bukungu yagambye nti abakyala bajja kukosebwa kubanga be banoonyeza abaana baabwe ekyokulya.

“Naddala ffe abeesigamye ku mukene, omwalo tunaagudda wa? “ Itengesha bwe yagambye.

Stephen Nyende, omuvubi ow’e Bumogoli mu Kagulu, yawagidde UPDF okujja kuba obukiiko bwa BMU, Poliisi n’abakulra eby’obuvubi baalemwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana