TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyatutte omwana okumutuuma amannya gamwesibye: Bamusabye akalira k'omwana n'atunula mpwangali!

Eyatutte omwana okumutuuma amannya gamwesibye: Bamusabye akalira k'omwana n'atunula mpwangali!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2019

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe bamusabye akalira k'omwana nga takalina. Abooluganda bamututte ku poliisi nga bamuteebereza okubba omwana.

Img2247 703x422

Nalunkuuma n'omwana gwe yatutte okutuuma erinnya.

Omuwala aggaliddwa ye Recho Nalunkuuma (19). Yasoose kugamba nti abeera Mpatta e Mukono ate oluvannyuma n’agamba nti abeera Bukasa –Buloba mu disitulikiti y’e Wakiso. Kino kye kyavuddeko abooluganda lw'omusajja okutandika okumwekengera.

Nalunkuuma yabadde atwalidde Saidi Nsereko eyali muganzi we ow’e Kabanga mu Divizion y’e Najjembe mu Lugazi Municipality omwana bamutuume amannya.

Abooluganda lwa Nsereko okubadde bannyina Kamiyaati Kiyodde, Agnes Nakawuka ne Nassimbwa Joan baategeka akabaga katono okwaniriza omwana mu famire yaabwe.

Mu kiseera ky'okutuuma amannya eyasoose okumukwata alina kye yeekengedde kwe kumuwa omulala eyamutuumye Amiirah Nantumbwa

Obudde nga buwungeera Nalunkuuma yasiibudde atere addeyo. Ssezaala yamusabye asigale nga waliwo emikolo emirala egirina okukolebwa.

Ekiro omuwala baamwekengedde nga balaba tamanyi kuyonsa mwana. Baamubuuzizza ekimukaluubiriza okuyonsa omwana n'abagamba nti ye alina ennyonyoogeze.

Nsereko agamba nti mu kutunuulira omwana yabadde talina kyamufaananako. Kwe kusaba omuwala amuwe akalira k’omwana n'ekipandde kwe yanywera eddagala. Nalunkuuma yabadde tabirina.

Bazzeemu okumubuuza gye yabadde alaga n'abagamba nti Masaka. Baamusabye bagende bonna mu tawuni e Lugazi bamuwe ku ssente z'entambula.

Bwe baatuuse e Lugazi baatuukidde ku poliisi. Eno gye baamukunyirizza okukkakkana ng'abagambye nti omwana si wuwe. Yamuggye ku mulamu we amufunireko ssente.

Ekirala Nsereko abadde amukooyezza okumusaba okulaba ku mwana

Omuduumizi wa Poliisi mu Disitulikiti y’e Buikwe Alex Wabwire yagambye nti Nalunkuuma bamuggalidde nga bwe banoonyereza omuntu omutuufu gwe yaggyeeko omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana