TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emisota gigobye Pulezidenti wa Liberia mu ofiisi

Emisota gigobye Pulezidenti wa Liberia mu ofiisi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

EBYEWUUNYISA tebiggwa mu nsi. Emisota egyagobye Pulezidenti wa Liberia, George Weah mu ofiisi nakati gikyatabudde abantu okwetoloola ensi. Kati ofi isi yagizzizza mu maka ge agali mu kibuga ekikulu Monrovia nga kati eweze wiiki.

Goba 703x422

Pulezidenti wa Liberia George Weah. Ku ddyo, Ogumu ku misota egyasangiddwa mu ofiisi.

Abasinga okulojja ekyatuuseewo be bantu abakolera ku kizimbe kya minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga okuli ne ofi isi y’omukulembeze w’eggwanga.

Bano baalabye ekintu ekitali kya bulijjo, emisota ebiri egyakula ne giwola bwe gyasangiddwa mu ofi isi, ya George Weah ng’ogumu guli ku mmeeza okuli essimu ne kompyuta.

Bino byabaddewo wiiki ewedde era Smith Toby omuyambi wa pulezidenti ng’ayogera n’ab’omukutu gwa BBC yagambye nti baabadde bamaze okufulumya ekiwandiiko ekitongole eri abantu abakolera ku kizimbe kino nga babategeeza ekyaguddewo ne babalagira buli omu okusigala eka okutuusa nga April 22 lwe banaaba bamalirizza okufuuyira ekizimbe kyonna okugobako ebyewalula bino.

Omukulu ensonga yaziralambalizza mu ddogpo. Kyokka Toby agamba ekyasinze okubeewuunyisa, ekizimbe olwafuuyiddwa, emisota gyaddukidde mu kituli ekiri ku kizimbe ne gibabulako era wano abantu abamu we batandikidde okuliyita eddogo.

Ofiisi ya Pulezidenti yazzibwa ku kizimbe okuli minisitule y’ensonga z’ebweru mu 2006 oluvannyuma lw’omuliro okwokya ekizimbe okwali ofi isi y’omukulembeze w’eggwanga.

Kigambibwa nti ensiko eriraanye ofi isi zino we wava emisota egitadde abakozi ne pulezidenti yennyini ku bunkenke.

George Weah eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi era nga ye muzannyi w’omupiira yekka okuva ku lukalu lwa Afirika eyali awangudde ku ngule ya ‘FIFA player of the year mu 1995’ Yawangula entebe ya pulezidenti wa Liberia omwaka oguwedde (2018).

Wabula ono si ye pulezidenti asoose okuba mu mbeera eno, mu 2017 pulezidenti wa Nigeria, Muhammadu Buhari yawalirizibwa okuva mu ofi isi olw’emmese okugizinda era yamala emyezi egiwera ng’akolera waka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...