TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawaabi ba Gav't beegayiridde kkooti esingise Kitatta ne banne emisango

Abawaabi ba Gav't beegayiridde kkooti esingise Kitatta ne banne emisango

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

ABAWAABI wa gavumenti mu musango gwa Kitatta beegayiridde kkooti y’amagye e Makindye esingise Kitatta ne banne emisango era basibwe.

Funayo1 703x422

Kitatta

Kitatta ne banne abalala mwenda baabadde bakomezeddwaawo mu kkooti okuwulira okwanukula kw’oludda oluwaabi ku kusaba kwabwe okw’obutasingisibwa misango.

Abawaabi ba gavumenti, Maj. Samuel Masereje ne Lt. Col. Rapheal Mugisha baasabye obutabuusabuusa bujulizi bwonna obwaweebwa ku bawawaabirwa ne bakkaatiriza nti byonna gaali mazima awatali kulimba.

Mugisha yategeezezza kkooti ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti nti Kitatta ne banne ssaako ofiisa wa poliisi Nixon Agasirwe obujuluzi bwabwe bufu.

Yayongeddeko nti Agasirwe ofiisa wa Poliisi ali ku ddaala erya waggulu yalimba kkooti nadda ne mu kati kubanga yalemwa n’okubuulira kkooti omwaka omutuufu gwe yazaalibwamu.

Agasirwe bwe yali awolereza Kitatta yategeeza kkooti nti yazaalibwa mu 1971-1972 awo nga teyeekakasa mwaka mutuufu gwe yazaalibwamu.Ono yayongerako nti yayingira poliisi mu 2000 kyokka mu 2010 n’abeera ku ddaala lya dayirekita ekintu ekitasoboka.

Mugisha yagambye nti kino kiraga nga byonna bye yayogera bulimba era n’asaba kkooti ekalige Kitatta ne basajja be kubanga kituufu emisango baagizza.

Yayongedde n’akkaatiriza obujulizi bwa Pte. Richard Kasaija, Cpl. Richard Wanyama, Maj. David Agaba ne Cpl. Baguma nga bonna bambega mu CMI n’agamba nti obujulizi bwabwe bwa maanyi obutasaanye kubuusibwa maaso.

Kitatta ne banne baakuba ebituli mu bujulizi bwonna obwabaweebwako nti bwabulimba era obutalina kwe bwesigamye wabula okubawaayiriza.

Looya w’abawawaabirwa, Shaban Sanywa yasabye aweebwe olwa April 29, 2019 okussaamu okusaba okusembayo kubanga oludda oluwaabi lwamuwadde kikeerezi ebiwandiiko.

Gutti kino yakikkirizza n’alagira abawawaabirwa bazzibwe e Luzira okutuusa kw’olwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...