TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Stella Nyanzi agobye abamweyimirira: 'Mundeke nfiire mu kkomera'

Stella Nyanzi agobye abamweyimirira: 'Mundeke nfiire mu kkomera'

By Hannington Nkalubo

Added 24th April 2019

STELLA Nyanzi yeecwacwanidde ku kkooti ya Buganda Road n’agaana mikwano gye n’aba famire ye okuddamu okumweyimirira nti ave mu kkomera e Luzira ku misango gy'ayise emijingirire egimussiddwaako.

Stella 703x422

Stella Nyanzi (wakati) n'abaserikale nga baddayo mu kkomera e Luzira.

Eggulo yazziddwaayo e Luzira okutuusa nga May 11 omwaka guno. Nga tannaba kulinnya bbaasi, yategeezezza omubaka Betty Nambooze Bakireke eyabadde n’aba FDC nga beetisse obubaka okuva mu Gavumenti ya Dr. Kizza Besigye eya Peoples Government nti tayagala kumweyimirira.

Yategeezezza Nambooze nti emisango gy’okuwandiika obubaka ku mikutu gya kompyuta mijingirire era talaba ngeri Gavumenti gy'esobola kugyesigamako kumuvunaana ate naye tasobola kukoma kuwandiika era atayagala bubaka bwe waddembe okugaana okubusoma kubanga kompyuta oba ssimu erina akapeesa akagaana okusoma obubaka bw’omuntu.

Yagambye nti, ayagala omulamuzi awulirize omusango gwe agusalewo ng’akolera ku mazima naye nga tassiddwaako bukwakkulizo bwa kweyimirirwa awatali musango gwonna gwe yazza.

Yamugambye nti ne bwe banaamweyimirira wagenda kuyitawo olunaku lumu addemu awandiike ate baddemu bamukwate.

Ayagala kkooti esalewo ekyenkomeredde oba okuwandiika ku mukutu gwa kompyuta musango oba si musango kiggwe.

Nambooze mu busungu yagambye nti, bagenda kuwandiikira abakulu mu kitongole ekiramuzi n’amakomera bayambe omuntu waabwe bawulirize omusango guno mangu kubanga eby'okweyimirirwa abigaanye.Nambooze yategeezezza nti, Gavumenti yeeyambisa obukwakkulizo obussibwa ku muntu okweyimirirwa n’etyoboola eddembe lye.

“Nze nnina emisango mingi naye tegiggwa. Gavumenti w'eyagalira weegizuukusiriza ekitali kituufu. Tusaba abalamuzi bawulirize omusango gwa Nyanzi mangu bagusalewo” Nambooze bwe yagambye.

Nyanzi avunaanibwa emisango ebiri gyonna nga gikwata ku kukozesa bubi emikutu gya kompyuta n’atyoboola ekitiibwa ky’abakulembeze.

Ng’abaserikale tebannaba kukkiriza bagenyi ba Nyanzi ku mulaba, abawagizi ba FDC n’abamu ku ba famire ye baasoose kwekalakaasa ne balangira abaserikale okutulugunya omuntu waabwe nga bamugaana okulaba abagenyi be kyokka oluvannyuma kyatereezeddwa bonna ne bakkirizibwa.

Aba famire beewuunyizza omusango bwe gwayongezeddwaayo amangu nti ekizimbe kya kkooti ya Buganda Road emisango mwe gyabadde giteekeddwa okuwulirizibwa kiddaabirizibwa era abawagizi beecwacwanye nti kyewuunyisa ne kaabuyonjo tezikyaliwo zaazibiddwa.

Nambooze yagambye nti bagenda kussaawo embeera ey'enjawulo okulaba ng'omusango gw’omuntu waabwe guwulirwa era gusalibwa mu budde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana