TOP

Maama Fiina agulidde Abasiraamu ettaka

By Joseph Mutebi

Added 24th April 2019

ABASIRAAMU baweereddwa amagezi okukomya okulowooleza mu kulwanagana ng’engeri yokka ey’okumalawo obutakkaanya nga beerabidde nti ensi tegulwa.

Papa 703x422

Maama Fiina (ku ddyo) ne Hajji Muhammed Swalihi Bbanja (amuddiridde) ng’ayogerako eri Abasiraamu.

“Njagala mbabuulire Basiraamu bannange nti okukeera ku makya n’oyoola Musiraamu munno n’omukuba ennume y’ekigwo ng’olowooza nti kye kigenda okulamawo ekizibu, si kituufu.

Kubanga eby’oku nsi tulyako makoola era y’ensonga lwaki ndi wano okulaba nga mbagulira ettaka lino musobole okukolerako emirimu gya Allah kubanga nange bwendiba nva ku nsi ne bwe ndikung'aanya ebyobugagga bitya sigenda kugenda nabyo,” bwatyo Maama Fiina bwe yategeezezza Abasiraamu b’e Kikaaya - Gogonya e Bulenga eggulo ng’abakwasa ettaka lye yabagulidde.

Maama Fiina okutuuka okugulira Abasiraamu bano ettaka lino lye babadde bakaayanira okumala emyaka 14, eryasooka okubaweebwako Hajji Muhammed Swalihi Bbanja we baazimba omuzikiti gwa Masigid Noor wabula ne beeyongeza gy’agamba nti yali tannabawaayo, era embeera eno yavaako enjuyi zombi okulwanagana wiiki ewedde.

Yagambye nti yasazeewo okugula ettaka lino ng’omukazi Omusiraamu ku lw’eyali bba, omugenzi Maj. Muhammed Kigundu.

Liweza ffuuti 73 - 147 ate n’oludda olulala ffuuti 50 ku 158. Yagasseeko nti kino akikoze ng’ayagala Allah kw’aba asinziira okumusonyiwa ebyamusobako.

Yagasseeko nti Bbanja abadde akaayanirawo yamuwadde ettaka e Bujuuko nga lya kyapa,. Liweza desimoolo 35, nga likubisaamu lino emirundi ebiri.

Kuno yamwongereddeko obukadde bubiri , gattako amatoffaali mutwalo mulamba azimbe enju etandikirwako.

Bbanja yeebazizza Maama Fiina okumutaasa ku Basiraamu ababadde baamufuukira kagumba weegoge. Akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Bulenga, Ali Katende yasabye Abasiraamu bulijjo okukolanga obuwandiike ssinga wabaawo omuntu alina ky’abawadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana