TOP

Omuwala omulala bamuwambye ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

OMUWALA omulala azuuliddwa ng’attiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’omwala e Namasuba mu Kikajjo.

Funa1 703x422

Abatuuze nga bakuhhaanidde mu kifo we baasanze omulambo gw’omuwala.

Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, abatuuze bwe baagudde ku mulambo gw’omuwala nga guliko ekiwundu ekinene ku mutwe ne mu kyenyi.

Omutuuze eyabadde agenze okutema ettooke mu lusuku ye yeekanze ekintu ekiringa omuntu era bwe yakisemberedde n’alaba nga mulambo ogwabadde guvuunikiddwa mu mwala n’atemya ku beebyokwerinda.

Poliisi yayanguye okutuuka ng’eri n’amagye ne baggyayo omulambo ne bagutwala mu ggwanika. Ku kyalo kino baakazuulako emirambo mukaaga okuli ne Joan Namazzi gwe batta nga kigambibwa nti baasooka kumusobyako.

Abawala abalala bataano tebaalina biboogerako ng’abaabatta baasooka kubasiba mimwa ne ggaamu nabo ne babasobyaako.

Embeera eno yeeraliikiriza abatuuze nga bakyalemeddwa okuzuula ekigendererwa ky’abatemu.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe, Fred Eriku yagambye nti omuwala eyattiddwa yandiba nga yaggyiddwa mu kifo kirala ne bamusuula wano.

Yasabye eyabuliddwaako omuntu we okutuukirira poliisi y’e Katwe kubanga tomanya yandiba nga y’ono eyattiddwa, omulambo ne bagusuula.

Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago, poliisi n’eggulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 06 23/04/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...