TOP

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Jip1 703x422

Omugenzi Mayanja bw’abadde afaana.

ABATUUZE b’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana bakukkulumidde poliisi ne bannabyabufuzi mu kitundu kino olw'okwolesa obunnanfuusi ne batafaayo ku byenfa ya munnaabwe eyakolera ennyo poliisi mu Nabweru n’emiriraano.

Ernest Mayanja 45 abadde omutuuze wa Nabweru south yafudde ku nkomerero ya wiiki ewedde oluvannyuma lw'okunywa ebigambibwa okubeera obutwa. Ono yali akola nga crime preventer ku poliisi e Nabweru.

Mayanja eyasangiddwa nga aboyaanira mu kazigo ke oluvannyuma lwa baliraanwa okuwulira ebigulumba, bamusanze abimbye ejjovu n’amaaso okudda waggulu kyokka n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro ly’e kiruddu. Yayatiikirira nnyo olw'ekibiina kye ekya ‘ssempa troupes’ ekibadde kiyimba ku mikolo n’okutendeka amasomero ag’enjawulo ebivuga n’amazina.

Abatuuze balumiriza nti Mayanja yeewadde obutwa oluvannyuma lw’okubeera ne situleesi ng’eva ku bantu abamulyazaamanya ssente ze era ng’abadde yabatwala mu kkooti e Nabweru omusango gye gubadde gukyawulirwa.

Nnamwandu annyonnyodde Justine Nakyanzi nnamwandu agamba nti, babadde baayawukana n’omugenzi era ng’abadde yadda Luweero omugenzi n’asigala e Nabweru wabula nga bakolera wamu okulaba nga balabirira omwana waabwe. Agamba nti, ku Lwokubiri yafunye essimu okuva ewa landiroodi w’omugenzi ng’amubikira nti afudde.

Nnamwandu agamba nti, omugenzi alabika yeewadde obutwa kuba mu kazigo omugenzi mwabadde asula baasanze empeke z’eddagala ly’emmese n’akacupa ka dayizoni mu mpale y’omugenzi. Mulekwa asaba buyambi Diana Nambi (12) muwala w’omugenzi agamba nti yasembye okubeera ne kitaawe ku mikolo gya kabaka kyokka ng’omugenzi yeemulugunya ku bantu ab’enjawulo baakoledde ne batamusasula ssente kyokka nga naye amabanja gamuli mu bulago.

Yawanjagidde abazirakisa okumuyamba kuba kitaawe y’abadde amuwa obuyambi kati baamugoba fiizi. Era yawanjagidde abazirakisa abayinza okwongera okutumbula ekitone kye eky’okuyimba n’okuzina kuba kitaawe abadde yamuyigiriza.

Poliisi eyogedde Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza okufa kwa Mayanja n’agamba nti poliisi esaaliddwa okuviibwako omuntu abadde agiyambako mu ngeri ez’enjawulo.

Poliisi egamba nti omugenzi yava mu bbaala mu kiro ekyakeesa olwokubiri era bwe yadda awaka n’atandika okuwoggana n’okuboyaana ekyawaliriza baliraanwa be okuyingira mu nju ne basanga ng’abimbye ejjovu n’addusibwa mu ddwaaliro e kiruddu gye yafiira.

Onyango agamba nti omugenzi yali ‘crime preventer’ era nga y’omu ku bantu abaaweebwa yunifomu za poliisi mu kukuuma obululu era yunifoomu ne bazizzaayo ku poliisi oluvannyuma lw’omulimu guno era ba ‘crime preventer’ bonna ne bassibwa wansi w’eggye lya UPDF era omugenzi abadde takyakolera poliisi.

Yayongeddeko nti poliisi tennakakasa kituufu kyasse Mayanja kuba bakyalinze bbaluwa okuva ew’omusawo. Yategeezezza nga poliisi bw’ekoze buli kisoboka okwenyigira mu nteekateeka z’okuziika munnaabwe eyabayambanga mu ntambuza y’emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...