TOP

Abasiraamu bategese olusirika lw'abavubuka

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

Olusirika luno olwokumala ennaku bbiri lwakubeerawo okuva nga April 26 lukomekkerezebwe nga April 27 omwezi guno ku Pearl of Africa hotel mu Kampala era nga lusuubirwa okwetabwamu amawanga 25 okwetoloola Africa.

Oldkampala 703x422

Hajji Nsereko Mutumba (ku kkono) addiriddwa Sabawandiisi w'Obusiraamu Sheikh Mugaru, Omunyuka wa Mufti owookubiri mu Ali Waiswa(owookubiri ku ddyo) ne Dr. Ebraheem Ssali bwe baabadde basisinkanye bannamawulire e Kampalamukadde.

Bya LAWRENCE KITATTA NE DORAH NAMAWEJJE 

OLUKIIKO lw’Obusiraamu mu ggwanga olwa Uganda Supreme Council nga lwegattidde wamu n’ekibiina ekitaba Obusiraamu mu nsi yonna bateeseteese olusirika lw’abavubuka Abasiraamu mu Africa.

Olusirika luno olwokumala ennaku bbiri lwakubeerawo okuva nga April 26 lukomekkerezebwe nga April 27 omwezi guno  ku Pearl of Africa hotel mu Kampala era nga lusuubirwa okwetabwamu amawanga 25 okwetoloola Africa.

Bino abali ku lukiiko oluteesiteesi nga bakulembeddwamu omumyuka wa Mufti owookubiri e Kampala Mukadde, Sheikh Muhammad Ali Waiswa ssaabawandiisi w’ekitebe ky’Obusiraamu, Sheikh Ramadan Mugaru ne Dr. Ebraheem Ssali baabyanjulidde bannamawulire mu lukung’aana lwe baabaddemu nabo ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde.

Olukungaana luno lutegekeddwa wansi w’omulamwa, “obuvunaanyizibwa bw’omuvubuka mu kuzimba Afrika ey’omu maaso”  nga lusuubirwa okwetabwamu abavubuka abasoba mu 500 okuva mu mawanga okuli Tanzania, Kenya, Burundi, Rwanda, South Sudan, Malawi DR Congo, Cameroon, Ethiopia, Burkina Faso, Gambia, Mozambique, Senegal, Egypt, South Africa n’amawanga amawanga amalala.

Ate Mufti wa Uganda, Sheikh Ramathan Mubajje waakusisinkana olukiiko lw’ekibiina ekigatta Abasiraamu mu Afrika lw’aliko nga ssentebe olwa African Forum for Muslim Council AFMC ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampala Mukadde ng’ali wamu ne ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Sheik Ebraheem Ssali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...