
Mmotoka Toyota Rav4 nnamba UAW 684W eyakutte omuliro ku Freedom City. Mu katono ye Nyakuni eyafudde.
OMUVUBUKA apakudde mmotoka ya mukyala wa mukulu we awaka nga tabategeezezza n’agikuba ekigwo n’ekwata omuliro naye n’afiiramu.
Akabenje kano kaaguddewo ekiro ekyakeesezza ku Paasika, Summary Nyakuni (29) eyabadde avuga mmotoka ekika kya Toyota Rav4 nnamba UAW 584W eyabadde ku misinde bwe yagudde mu maaso ga Freedom City ku Entebbe Road kyokka n'ekwata omuliro.
Kigambibwa nti Nyakuni yasoose kukoona ba bodaboda e Najjankumbi bwe yalabye nga tajja kusobola kubanganga n’adduka ng'avuga endiima wabula nabo baamulemeddeko ne bamugoba.
Poliisi y'ebidduka yatuuse awaagudde akabenje n’esobola okufuna densite y'omugenzi n'akatabo omwabadde nnamba z'amasimu ge baakubye okumanyisa abantu be.
Mmotoka yatwaliddwa ku polisi y'e Lubowa omulambo ne gutwalibwa mu ggwaninka e Mulago. Omugenzi abadde abeera mu bitundu by'e Namasuba