TOP

Ofiisa wa poliisi afudde kibwatukira

By Muwanga Kakooza

Added 24th April 2019

Cpl. Sanyu yasooka kubeera OC wa poliisi y’omu Kizungu e Makindye, OC wa poliisi y’omu Kizungu e Makindye, Clock Tower, Ndeeba, Lubowa, Kabalagala n’akolerako ne mu kitongole kya SID e Kireka gye yavudde okuzzibwa e Katwe.

Owapoliisingakutteekifaananyikyomugenziannetssanyu 703x422

Owapoliisi ng'akutte ekifaananyi ky'omugenzi Annet Ssanyu.

Cpl. Annet Ssanyu 45, ofiisa abadde akolera mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID e Katwe afudde kibwatukira.

Kigambibwa nti obulwadde obwamusse bwavudde ku bigere ebyazimbye ne bamukebera mu malwaliro agawerako nga tebalaba bulwadde era n’afa.

Mu kuziika okwabadde e Mpigi ku Lwokutaano, Can. Wilberforce Male Mugabi ng’abuulira mu kusabira omwoyo gw’omugenzi, yalabudde Bannayuganda bakomye okunenyanga poliisi n’abasaba babasiimeko olw’emirimu gye bakola naddala egy’okubakuuma n’okutangira abamenyi b’amateeka.

Cpl. Sanyu yasooka kubeera OC wa poliisi y’omu Kizungu e Makindye, OC wa poliisi y’omu Kizungu e Makindye, Clock Tower, Ndeeba, Lubowa, Kabalagala n’akolerako ne mu kitongole kya SID e Kireka gye yavudde okuzzibwa e Katwe.

Cpl. Ssanyu yafiiridde ku myaka 45. Yalese abaana basatu. Yaziikiddwa abapoliisi bangi okwabadde n’akulira bambega e Katwe (D/ASP), Fred Eriku n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...