TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bookisi z'ebyamaguzi ezabibwa ku mmotoka zimukwasizza naggalirwa

Bookisi z'ebyamaguzi ezabibwa ku mmotoka zimukwasizza naggalirwa

By Edward Luyimbazi

Added 24th April 2019

Bookisi z'ebyamaguzi ezabibwa ku mmotoka zimukwasizza naggalirwa

Sib2 703x422

POLIISI mu Kampala ekutte omusajja ali mu kibinja ky’abefuula abetissi nebabba ebyamaguzi ku mmotoka nebabitwala okubitunda.

Moses Ssali amanyiddwa nga Mulema yeyakwatiddwa poliisi ya CPS oluvanyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mubasuubuzi nga bwe waliwo abefuula ab’etissi n’okutikula ebyamaaguzi byabwe ku mmotoka kyokka nebabibba.

Akulira ebikwekweeto ku poliisi ya CPS Ivan Nduhura yagambye nti Ssali ngasinga kubeera ku William Street  awasimba  loole ezitikula n’okutikka ebyamaguzi okubitwala mu bitundu ebyenjawulo nebabibba nga bamu batuuka n’okulinnya loole nebabibbako.

“Twafunye okwemulugunya nti waliwo abawalampa loole ezireeta eby’amaguzi  nebabbako emimu nebabutwala era nebabaako gwe balumiriza okwenyigira mu kikolwa kino ng’alina banne bakolagana nabo kwekugendayo nakwatibwa” Nduhura bwe yategezezza.

Yagambye nti okukwata Ssali bamaze kufuna okwemulugunya okuva ku musuubuzi eyamulimiriza okulinnya mmotoka nabbako bookisi 7 omwali ebyamaguzi nazitwala ng’alina bweyali akolaganye nabo era bwe bategedde weyabadde nebagendayo nakwatibwa.

Yategezezza nti waliwo ebibinja b’ababbi abelimbikka mu kwetikka n’okukola emirimu emirala nga balina ebigendererwa eby’okubba   nga abamu bakwatiddwa nebaggalirwa.

Ssali yaggaliddwa ku poliisi ya CPS oluvanyuma lw’okuggulwako omusango oguli ku fayiro SD 43/24/04/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze