TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okutta Dr Agaba asimbiddwa mu kkooti olwaleero

Agambibwa okutta Dr Agaba asimbiddwa mu kkooti olwaleero

By Joseph Mutebi

Added 24th April 2019

Agambibwa okutta Dr Agaba asimbiddwa mu kkooti olwaleero

Kot1 703x422

OMUSAJJA eyasse dokita Catherine Agaba ow’eddwliro lya IHK e Namuwongo  Ronald Obangakene asimbiddwa mu  kkooti  e makindye navunaanibwa  emisango ebiri okuli ogwokutta omuntu ssaako n’okubisa eryanyi.

Obangakene 24, omukuumi w’obwanannyini ku mayumba agabangisibwa aga GPS Apartments e Muyenga mu munipaali y’e Makindye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala eryokubiri John Robert Okipi owa kkooti y’e Makindye navunaanibwa.

Omulamuzi Okipi teyaganyizza Obangakene kubaako kyayogerwako n'amutegeeza nti emisango gyeyazza gwa naggomola nga kkooti ye terina lubuyinza   kuwulira misango gyakikula bwekiti.

Omusajja ono yatuusiddwa e Makindye wakati mu bukuumi obwamanyi okuva ku poliisi e Kabalagala gayabadde akuumirwa .

Ku ssaawa mwenda yasimbiddwa g’omulamuzi ono  n'asomerwa  emisango ebiri okuli ogw’obutemu nga kigambibwa nti nga April 12, 2019 e Muyenga Bukasa mu Makindye ngakozesa amanyi yatuga Dr . Catherine Agaba  ekyamuviirako okufa mu bwangu ddala.

Ono era yavunaaniddwa okubba ng’akozesa eryanyi nga ku lunaku lwe  lumu bweyamala okutta Agaba yabba ebintu okuli leediyo emizindaalo gya wuufa,  Gaasi kuuka, essimu ye ey’omu ngalo , Televisoni y’omu nnyumba enenne eyolubaati, ebintu by’omu nnyumba ebirala omuli amajiiko ne kalonda  omulala.

Omuwaabi wa gavumenti Batson Baguma  yategezezezza omulamuzi nti okunoonyereza ku misango gino kukyagenda mu maaso nasaba aweebwe obudde poliisi ekole okunoonyereza kwonna okwetagisa.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga April 12, Dr. Agaba ng’akomyewo awaka okuva ku mulimu, Obangakene yamukwata akabadiya nga yakayingira ku geeti mu kikommera mwasula namuttirawo   era oluvanyuma omulambo gwe  nagusula mu kinnya kya kazambi mwe gwazuuliddwa ku mmande ya wiiki eno nga guvunze.

Oluvanyuma obutemu ono yadduka neyekweka mu disitulikiti ya Ayam  nga abajasi ba CMI ne poliisi   gye bamukukkunudde nga bamuketera ku ssimu ya Dr Agaba gye yamubbako ate natandiika okugikozesa.

Omulamuzi Okipi yalagidde atwalibwe ku limanda e Luzira okutuusa nga May 13,2019. lwanakomezebwawo okuwulira okunoonyereza wekutuuse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...