TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa olw'abalumbaganyi abagambibwa okwesogga Uganda

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa olw'abalumbaganyi abagambibwa okwesogga Uganda

By Joseph Makumbi

Added 25th April 2019

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa olw'abalumbaganyi abagambibwa okwesogga Uganda

Lab2 703x422

ABEEBYOKWERINDA mu Uganda bongedde okunyweza ebyokwerinda oluvannyuma lw’abatujju b’akabinja ka ISIS ne Islamic State of Iraq basatu okwagala okwesogga eggwanga nga bayita ku nsalo ya Uganda ne Congo.

Akasattiro kaabadde kamaanyi naddala mu biseera bya Easter aba ISISI bwebaalangiridde nti, nti bebaakoze obulumbaganyi ku Bovata mu tawuni y’e Beni mu bukiika ddyo bwa Kivu omwafiiridde bannansi ba Congo munaana.

Akabuga k’e Beni, kali kiromita ntono nnyo okuva mu disitulikiti y’e Kasese mu Uganda. Mu Kabuga kano, abatujju ba ISIS webaakubye enkambi yabwe nebateekawo ne bendera yabwe.

Guno, gwemulundi ogusoose abatujju ba ISIS okutwala obuvunanyizibwa ku butujju obubadde bukolebwa mu Congo ekitadde amawanga ag’omuliraano ku bunkenke naddala Uganda.

Abeebyokwerinda mu Uganda, baafunye amawulire nti, abatujju basatu okuva mu nkambi ya ISIS gyeyakubye mu Kabuga k’e Beni, abaabadde bakulembeddwamu Rashid Abdul Tawab n’abalala babiri abatanamanyika mannya okuli n’omukazi, baabadde baagala kusala nsalo okuyingira mu Uganda.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti, okuva eyali omuduumizi wa ADF, Jamil Mukulu lweyakwatibwa e Tanzania naakomezebwawo mu Uganda okuvunaanibwa emisango gy’obutujju n’obutemu, ebikolwa eby’ekitujju ku North Kivu bibadde byakendeera.

Ebitongole byeebyokwerinda byonna mu Uganda, bimalirivu okwanganga aba ISIS mu mbeera yonna singa banagezaako okwagala okukola obulumbaganyi ku Uganda.

Isaac Ssawe akulira ebikwekweto mu ISO yakakasizza nti, abatujju ba ISIS mwebali mu kitundu era bandiyagala okukola obulabe ku Uganda essaawa yonna.

Yagaseeko nti, babadde bagezaako okuyingira Uganda enfunda eziwera nga balemwa naagattako nti, baafulumizza ebifaananyi by’abatujju abaagala okwesogga Uganda okumanyisa abantu webabalabirako batemye ku beebyokwerinda.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza nti, UPDF ebbanga lyonna ebaddewo okukuuma BAnnayuganda n’ebintu byabwe era eggya kusigala ng’ekola ekyo tewateekeddwa kubeerawo kweralikirira kwonna.

Yagaseeko nti, oba ebya ISIS okubeera e Congo bituufu oba bikyamu, UPDF weeri okukuuma Bannayuganda n’ebyabwe.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, poliisi nayo eri bulindaala okwanganga n’okusanyaawo enkambi z’abatujju zonna mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...