TOP

New Vision eneegaba engule eri omuyizi asinga

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

New Vision eneegaba engule eri omuyizi asinga

Jap2 703x422

Barbra Kaija omukung'aanya ow'okuntikko mu Vision Group

ABAYIZI b’e Makerere abasoma amawulire naddala okukuba ebifaananyi bali mu kubbinkana mu mpaka z’abasoma okukuba ebifaananyi ezimanyiddwa nga Cranimar Mugerwa Award okulondako asinga agenda okufuna ekirabo ekiweebwayo New Vision.

Leero nga April 25, 2019, omuwanguzi agenda kufuna ekikopo, ssente enkalu 1,000,000/- n’okuweebwa omukisa okutendekebwa okumala emyezi mukaaga ng’akola ne New Vision nga buli mwezi asasulwa 500,000/-. Omukuhhaanya wa Vision Group ow’oku ntikko, Barbara Kaija yategeezezza nti empaka zino zitegekebwa New Vision ne Makerere University.

Zaateekebwawo okujjukira omugenzi Cranimer Mugerwa eyali omukubi w’ebifaananyi omuzira New Vision gwe yalina. Zeetabwamu abayizi abasoma amawulire e Makerere. Abasomesa be basunsula ne balondako omuwanguzi.

Mugerwa yafa March 2001 ku myaka 36 ne bamuziika e Bulenga ku lw’e Mityana. Yaleka omwana omuwala omu ekiseera ekyo ng’aweza emyaka 12.

New Vision emujjukira olw’obukugu, obuzira n’okwagala omulimu gwe bye yayolesa mu kiseera we yakubira ebifaananyi mu New Vision. Kaija agamba nti Mugerwa yali mukubi wa bifaananyi ow’enjawulo ng’olumutuma tabuuza lwaki gwe batumye wabula okubuuza kiki ky’agenda okukola era n’akikola n’omutima gumu ne kivaamu omulimu omulungi.

Ajjukira lwe yagenda e Congo n’akuba ebifaananyi by’Olubiri lwa Mubutu Sese Seko. Yagambye nti Mugerwa olwaleeta ebifaananyi buli muntu n’awuniikirira nga biraga ekisenge kya Mubutu ekyali ekigazi ennyo nga kumpi kyenkana ennyumba eya bulijjo nga kirimu ekitanda ekigulumivu.

Ebifaananyi bino tebyakoma kwanaamiriza bantu wabula n’emikutu gy’amawulire emirala gyabigula okuva ku New Vision kubanga bangi baali tebafunanga mukisa kumanya kituufu ekyali mu Lubiri luno.

Mu bukiikakkono bwa Uganda waabalukayo ekirwadde kya Ebola, waliwo omukutu gw’abazungu ogwafulumya ekifaananyi ekiraga entuumu z’omusenyu mu luggya lw’omutuuze ne bagamba nti gaali malalo g’abantu abafudde ebola kyokka Mugerwa yagendayo n’akuba ebifaananyi ebiraga ekituufu ekyaliyo ensi n’ekitegeeza nti ekifaananyi kiri tekyali kituufu.

John Kakande omukung’aanya wa New Vision yategeezezza Bukedde nti yakolako ne Mugerwa era yakolera mu New Vision okuva 1994 – 2001. Agamba nti ekigendererwa ekikulu, New Vision eyagala okukuzimba abakuba ebifaananyi okusobola okunyweza omukululo Mugerwa gwe yalekawo.

Herbert Lumansi asunsula ebifaaananyi mu Bukedde Nasisinkana Mugerwa mu 1994 nga Bukedde atandika, yali musajja mwangu okukolagana naye ng’ayagaliza era ng’asomesa abalala engeri gye balina okukubamu ebifaananyi ebirungi.

Yakuba ebifaananyi mu lutalo lw’e Rwanda mu 1994 era yaleeta ebifaananyi by’ebipampagalu by’ennyonyi omwafiira eyali pulezidenti wa Rwanda, Juvénal Habyarimana.

ABAZZE BAWANGULA EMPAKA ZINO:

• Sr. Grace Chandiru 2001 • Fred Nangoobi 2002 • Gilbert Awekofua 2004 • Joseph Kariuki 2007 • Edward Echwalu 2009 • Nancy Karunganwa 2010 • Racheal Ninsiima 2012 • Badru Katumba 2015/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana