TOP

Enkuba egoyezza ebyalo n’etta 18

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

Enkuba egoyezza ebyalo n’etta 18

Fut1 703x422

ABANTU 18 be bakakasiddwa okuba nga baafiiridde mu nkuba eyabaddemu omuyaga ogw’amaanyi n’omuzira ebyakubye ebyalo mu disitulikiti y’e Buyende n’e Kamuli. Omuyaga guno gwalese amaka agasoba mu 400 ku ttaka.

Empewo yatikuddeko obusolya olwo ebisenge n’amattofaali ne bigwira abantu ne bibatta. Enkuba eno yatandise ku ssaawa bbiri n’ekitundu ez’ekiro ekyakeesezza ku Lwokubiri nga yatonnye ku byalo okuli Nabweyo A, Nabweyo B, Kabugudo, Nakabembe ne Itamya mu ggombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende.

Okusinziira kw’akulira eddwaaliro ly’e Kidera Health Centre, Dr. Antony Kwiri, abantu 70 be baaweereddwa ebitanda, abalala 78 baaleeteddwa nkeera okuweza omugatte gw’abantu 148. Ebiwoobe byabuutikidde ebyalo nga abenganda bayaziirana olw’abantu baabwe okufiira mu nkuba gye baabadde beesunga okuviira ddala mu Decembar.

BANA BAFUDDE MU MAKA GAMU Ku kyalo Nabweyo, Ssemaka Aramanzan Tusuubira 40, yafudde n’abaana be basatu okuli; Nusura Nalubega 10, Sharia Nabayinda 7, ne Arafat Mugobya 4. Nnyaabwe Tausi Ndibogeza eyasimattuse, yategeezezza nti yalagidde abaana bafulume enju badduke, kitaabwe n’abagaana.

Ye n’adduka ne yeggama mu muti era waayise eddaakiika ntono enju ne babuutikira, bonna ne bafiiramu

KIBULA KY’OMUZIKITI TEKYAGUDDE

Ekyewuunyo kyabadde ku kyalo Nabweyo A, omuzikiti bwe gwaggweeredde ku ttaka kyokka “kibula” ba Imaam mwe bayimirira nga basaaza ne kisigalawo nga ky’etengeredde. Mu disitulikiti y’e Kamuli, omuyaga gwakubye ebyalo okuli Balawoli, Nabulezi, Kakanhu, Nabirama ne Kabaganda omwafiiridde abantu bana.

Omwogezi wa Poliisi mu Busoga North Region, Michael Kasadha yagambye nti enkuba yasanze ekitundu ekimaze ebbanga nga kikalu era yagoyezza ebyalo bingi.

Minisita w’ebigwa bitalaze, Musa Ecweru yatuuse e Buyende n’alambula ebyalo ebyakoseddwa n’okukubagiza abaafiiriddwa. Ecweru yayanjudde obuyambi okuva mu gavumenti omwabadde ensawo z’akawunga 200, ez’ebijanjaalo 100, essefuliya 100, bulangiti 500 n’obutimba bw’ensiri 500.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana