TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babakutte lwa kuggya ssente ku yasobeza ku mwana waabwe

Babakutte lwa kuggya ssente ku yasobeza ku mwana waabwe

By Paddy Bukenya

Added 25th April 2019

Babakutte lwa kuggya ssente ku yasobeza ku mwana waabwe

Tip2 703x422

BAZADDE b’omwana ow’emyaka ena eyasobezeddwaako bakwatiddwa lwa kuggya ssente ku musajja nga bamusuubizza okumatiza poliisi emuyimbule.

Salama Nambasa 28 ne mukulu we Aisha Bisirikirwa ab’e Butajja mu ggombolola y’e Budde e Butambala be baakwatiddwa oluvannyuma lw’okufuna ssente ku musajja agambibwa okusobya ku mwana nga bamusuubizza nga bwe bagenda okwogera ne poliisi emuyimbule.

Bisirikirwa ne Nambasa baasabye abooluganda lwa Edward Kaggwa Ssekimpi 500,000/-gwe balumiriza okusobya ku mwana waabwe, ze baabadde tebalina ne babawaako 400,000/- era baazikwasizza Bisirikirwa n’azissa mu kaleega. Baakoze endagaano nga basuubizza okusasula 100,000/- ezaabadde zisigaddeyo mu bbanga lya wiiki ssatu.

Okukakasa nti baabadde bakutuukiriza kye bakkaanyizaako baakoze endagaano gye baataddeko omukono n’abooluganda lwa Ssekimpi.

Poliisi y’e Kibibi olwakitegedde n’ekwata Bisirikirwa ne maama w’omwana Nambasa n’ebaggalira kyokka ne beewoozaako nga abooluganda lwa Ssekimpi bwe baabadde basusse okubeegayirira nga baagala babateereyo akabega omuntu waabwe asobole okuyimbulwa.

Bisirikirwa poliisi bwe yamwazizza yamusanze n’endagaano gye baabadde bamaze okukola ng’eraga nti afunye 400,000/-.

Baamubuuzizza gye yabadde azitadde n’asooka okwegaana nti tazirina kyokka bwe baamwazizza ne bazisanga ng’azikwese mu kalega n’aziggyayo. Okukakasa nti ssente zennyini ze zaabadde zimuweereddwa bwe baazibaze nga ziri 400,000/- nga bwe ziri mu ndagaano gye baabadde bamaze okukola.

Omwogezi wa poliisi mu Ka tonga, Phillip Mukasa yagambye nti Bisirikirwa ne Nambasa bagenda kuvunaanibwa omusango gw’okulya enguzi n’ekigendererwa ky’okubuzaabuza omusango.

Yagambye nti baagala abazadde bano babeere ey’okulabirako eri abalala ababadde beekobaana n’abamenyti b’amateeka ne babuzaabuza emisango ne bavumaganya poliisi nti ye yalidde enguzi n’eyimbula omumenyi w’amateeka ng’ono eyasobezza ku mwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo