TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balonze akakiiko k’emikolo gy’omusumba w’e Masaka omuggya

Balonze akakiiko k’emikolo gy’omusumba w’e Masaka omuggya

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

Balonze akakiiko k’emikolo gy’omusumba w’e Masaka omuggya

Fat2 703x422

Omusumba Kaggwa ( ku ddyo) ne Serverus Jjumba alinda okutuuzibwa.

ABAKRISTU mu ssaza ly’e Masaka batandise okwetegekera okutuuza Omusumba omuggya ow’essaza lino nga July 6, 2019. Omukolo gwakubeera ku kisaawe okumpi ne Lutikko y’e Kitovu.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa wiiki ewedde nga kiteereddwaako omukono gw’omubaka wa Paapa mu Uganda, Bianco Luigi kyalaze nti Paapa Francis yalonze abadde Viika Genero w’essaza lino Musinyooli Serverus Jjumba okudda mu bigere by’Omusumba John Baptist Kaggwa abadde Omusumba w’essaza lino okuva mu 1995. Omusum,ba Kaggwa omwaka oguwedde bwe yawezezza emyaka 75 egyessalira gy’alina okuwummulirako obuweereza buno.

Serverus Jjumba bamuzaala Bulando - Bujja mu ggombolola y’e Buwungu okumpi ne Kitovu e Masaka ng’alina emyaka 57. Akoledde mu ssaza lino mu bifo ebyenjawulo nga yaliko omuwandiisi w’essaza kyokka waafunidde obukulu buno nga ye mubeezi w’Omusumna Kaggwa.

Baalonze olukiiko olukulirwa Rev. Fr. George Lubega n’omuwanika Rev. Fr. Ssemakula okutandika okulongoosa n’okuyooyoota ekisaawe awagenda okubeera emikolo. Olukiiko luno lwe lwaweereddwa omulimu gw’okunoonya ssente ezigenda okutegeka omukolo guno.

Olukiiko luno era lwamaze okutuukirira disititulikiti y’e Masaka ekulemberwa ssentebe Jude Mbabaali ne Meeya wa Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo okubawa ebyuma ebigenda okweyambisibwa okusenda ekifo kino n’okubayamba okutereeza enguudo ezituuka mu kifo kino omukolo gugende okutuuka ng’ekifo kiyooyooteddwa bulungi.

Essaza ly’e Masaka litwala disitulikiti y’e Masaka, Kalungu, Ssembabule, Lwengo, Bukomansimbi, Rakai, Kyotera, Lyantonde ne Kalangala. Abaaali bakulembeddeko essaza lino kuliko; Omuzungu omugenzi Henry Streicher (Sitenseera) 1897-1933, omugenzi Joseph Kiwanuka Nakabaale 1939-1961 n’omugenzi Adrian Kivumbi Ddungu 1962-1998 ng’Omusumba John Baptist Kaggwa gwe yaddira mu bigere nga nga naye yawummudde Serverus Jjumba n’adda mu kifo kye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...