TOP

Apakudde mmotoka n’ekola akabenje n’emutta

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

Apakudde mmotoka n’ekola akabenje n’emutta

Lip1 703x422

OMUVUBUKA apakudde mmotoka ya mukyala wa mukulu we awaka n’ekwata omuliro naye n’afiiramu.

Akabenje kano kaaguddewo ekiro ekyakeesezza ku Paasika, Summary Nyakuni 29, eyabadde avuga mmotoka eno ekika kya Toyota Rav4 nnamba UAW 584W eyabadde ku misinde n’afiirawo, bwe yagudde mu maaso ga Freedom City ku lw’e Ntebe.

Kigambibwa nti Nyakuni mmotoka yamukutudde amagulu n’afiirawo nayo n’ekwata omuliro.

Nyakuni yasoose kukoona ba bodaboda e Najjannakumbi n’adduka ng’avuga endiima nabo ne bamusimbako. Poliisi y’ebidduka yatuuse awaagudde akabenje n’esobola okufuna densite y’omugenzi n’akatabo omwabadde nnamba z’amasimu ge baakubye okumanya abantu be.

Mmotoka yatwaliddwa ku polisi y’e Lubowa omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago. Omugenzi abadde abeera mu bitundu by’e Namasuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo