TOP

Abasiraamu bategese olusirika lw’abavubuka

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

Abasiraamu bategese olusirika lw’abavubuka

Kit2 703x422

Hajji Nsereko Mutumba (ku kkono) addiriddwa Sheikh Mugalu, Ali Waiswa (owookubiri ku ddyo) ne Dr. Ebraheem Ssali.

OLUKIIKO lw’Obusiraamu mu ggwanga olwa Uganda Supreme Council nga lwegattidde wamu n’ekibiina ekitaba Obusiraamu mu nsi yonna bateeseteese olusirika lw’abavubuka Abasiraamu mu Africa.

Olusirika luno olw’okumala ennaku ebbiri lwakubeerawo okuva nga April 26 lukomekkerezebwe nga April 27 omwezi guno ku Pearl of Africa Hotel mu Kampala era nga lusuubirwa okwetabwamu amawanga 25 okwetooloola Africa.

Bino abali ku lukiiko oluteesiteesi nga bakulembeddwaamu omumyuka wa Mufti owookubiri e Kampala- mukadde, Sheikh Muhammad Ali Waiswa Ssaabawandiisi w’ekitebe ky’Obusiraamu, Sheikh Ramadan Mugaru ne Dr. Ebraheem Ssali baabyanjulidde bannamawulire mu lukuhhaana olwabadde ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde.

Olukuh− haana luno lutegekeddwa wansi w’omulamwa, “Obuvunaanyizibwa bw’omuvubuka mu kuzimba Afrika ey’omu maaso” nga lusuubirwa okwetabwamu abavubuka abasoma mu 500 okuva mu mawanga okuli Tanzania, Kenya, Burundi, Rwanda, South Sudan, Malawi DR Congo, Cameroon, Ethiopia, Burkina Faso n’amalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana