TOP

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA

By Ruth Nazziwa

Added 25th April 2019

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA

Kip3 703x422

Ensiri

Annet Abisemeza omutuuze mu Katanga e Wandegeya, agamba nti omwanawe yabutuka olususu n’alowooza nti lukusense ate banne ne bamugamba nti bbugumu. Oluvannyuma yafuna ekifuba ekyamulumira ebbanga nga tekigenda wadde yali afuna obujjanjabi mu ddwaaliro.

Wabula bwe baamukebera omusaayi ne bazuula ng’alina omusujja gwensiri. Kati namuguliddeyo ekitundu kya doozi ya ‘Coartem’ n’amirako naye wadde nga tannatereera alaga nti ajja kuba bulungi.

Obuzibu bwonna nkimanyi buva ku butabasuza mu katimba ka nsiri kuba bampa obutimba bubiri akange n’akabaana naye ak’abaana kakaddiye. Nakatunga okutuusa nga sikyalina we ntunga ne nkasuula, kati nze nsula mu katimba abaana bange basulirawo.

Nkubira Gavumenti omulanga bakomewo batwongere obutimba kuba nnina abaana mukaaga naye bonna tebasula mu katimba.

ABAKYALA FFE TUSIBYE OMUSUJJA GW’ENSIRI MU BITUNDU Maria Twesige mu Zooni ya Kimwaanyi - Katanga naye akaaba butaba na butimba bwa nsiri bumala baana be.

“Nsula mu katimba naye abaana bange bataano tebakasulamu kuba nnina kamu ke bampa. Nze nnoonya omugaati, noolwekyo omusujja bwe gunkuba wansi kiba kitegeeza nti bagenda kusiiba njala era omwana wange omu mulwadde wa musujja gwa nsiri ate ng’omwezi guno gwokka, gumukubye emirundi ena.

Wabula abakyala ffe tusibye omusujja gw’ensiri mu kitundu, kazambi ne kasasiro byonna tubimansa mu myala. Enkuba bw’etonnya, buli omu aggyayo kasasiro we ng’ayiwa mu mwala era olumu agaana okugenda nga guzibikidde ate amazzi ne ganjaalira mu mayumba ate ng’amazzi agalegama ensiri mwe zizaalira

GAVT. EYONGERE ENSIISIRA Z’EBYOBULAMU

Ssentebe wa Katanga, Timothy Bagonza agamba nti, Katanga alimu abatuuze abasoba mu 40,000 era obulwadde bw’omusujja gw’ensiri tegubataliza. Abatuuze b’omu Katanga mbalambula buli lunaku ne mpitaayitamu nga mbabuuzaako n’okumanya embeera y’ekitundu bw’eyimiridde.

Naye era omusujja gw’ensiri kumpi gukwata kisooka mu kutigomya bannakatanga kuba we mmalirayo ekitundu kyonna, nsangamu abantu abali wakati wa 5 ne 10 abalwadde b’omusujja gw’ensiri naddala abaana. Era ng’obuzibu businga kuva ku mwala omunene ogwa Katanga Channel. Gavumenti ne KCCA balemeddwa okutuzimbira omwala guno, oguzaaliramu ensiri omwaka gwonna kuba tegukalira.

Ekirala abantu abasinga mu Katanga tebasula mu butimba bwa nsiri kubanga gavumenti bwe yagaba tebwamala, ate abalala babukozesa nga byangwe. Ekirala omusujja gw’ensiri bwe gubakwata, tebayita mu makubo matuufu kwejjanjabisa, bagulayo ddagala nga panado oba obuweke bw’omusujja nga bamirako, bww bafunamu akangubanguba nga balekera awo. Ekisinga okuluma abatuuze0, eddwaaliro eddene erya Mulago lituli kumpi naye abagendayo baakoowayo olw’ennyiriri ennene.

 

Are otuukayo ne bakusindika e Kawempe nga tebakukozeeko ate nayo bw’otuukayo tebakukolako nga bakusindika Kiruddu. Okukkakkana nga ssente ozimalide awo mu kwetooloola ekizihhamiza eby’obujjanjabi mu kitundu .

Ekirala, ssente ezigula eddagala ly’omusujja zikyali nnyingi era ekitono ennyo, omuntu bw’afuna omusujja asaasaanya 20,000/- ate ne bateekako nti olina kulimizisa mata nga n’abantu baffe abamu basiiba njala.

Abalala banywa Kaziire n’ekigaji mu kifo ky’okwejjanjabisa. Tusaba gavumenti eyongere okuteekawo ensiisira z’ebyobulamu era eteekewo ebisikiriza abantu okuzettanira ng’oli bw’ajja okumukebera, bamuweerako akatimba k’ensiri.

Batwongere n’emisomo mu kitundu ku bikwata ku musujja gw’ensiri n’endwadde endala kuba omuntu bw’ategeera obubonero n’engeri gye basobola okufunamu obujjanjabi, tusobola okubulwanyisa mu kitundu. Esther Namawejje, omusawo mu Katanga agamba nti, olunaku afuna abatuuze abalina obubonero bw’omusujja gw’ensiri abali wakati wa bataano ne 10. Wabula ennejjanjabisa embi y’esibye omusujja mu bitundu.

Abantu tebamira ddagala kulimalayo n’abalala baagala okwejjanjabisa eddagala bo lye baagala. Abalala babeera na musujja gwa mu byenda ate ne baagala okwejjanjabisa eddagala ly’omusujja gw’ensiri.

EBISIBYE OMUSUJJA GW’ENSIRI MU GGWANGA Dr.

Jimmy Opigo, akulira ekitongole ekirwanyisa omusujja mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti okunoonyereza kulaga nti mu Uganda, abantu 19 ku buli 100 balina omusujja gw’ensiri era nga gusinga mu baana abali wansi w’emyaka 10 n’abakyala ab’embuto kubanga obwerinzi bw’emibiri gyabwe bubeera wansi.

l Dr. Jane Nabakooza ow’ekitongole ekirwanyisa omusujja gw’ensiri ekya National Malaria Control Programme mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti, abantu tebagwejjanjabisa bulungi ate abalala bejjanjabisa tebeekebezza eky’obulabe ate ne kirinnyisa n’ebisale by’obujjanjabi. Obubonero bw’omusujja kuliko: okusesema, okuggwaamu amazzi n’omusaayi, obwongo okukosebwa n’okwonoona ensigo.

l Obujama mu bitundu ebitwetoolodde nakyo kikoze kinene mu kutusibako omusujja gw’ensiri nu ggwanga. l Okulwawo okufuna obujjanjabi.

l Embeera y’obudde mu ggwanga.

l Ensiri zaffe za maanyi okukira ebika by’ensiri ebiri mu nsi endala era zeetaaga obujjanjabi obw’amaanyi.

l Obutakozesa butimba bwa nsiri ne zibaluma naddala abaana. Obulagajjavu mu bantu kuba bangi babutwala ng’obulwadde obwabulijjo ne batafaayo kwejjanjabisa.

l Okwetangira omusujja gw’ensiri abantu tebakitwala nga buvunaanyizibwa bwabwe nga bwe bakola ku ndwadde endala.

BW’OZIYIZA OMUSUJJA GW’ENSIRI

Ggalawo ennyumba nga bukyali, tema ensiko ekwetoolodde awaka, sula mu katimba k’ensiri.

l Ow’olubuto bulijjo funa obujjanjabi mu basawo abakugu.

l Fuuyira enju buli luvannyuma lw’ekiseera ekigere. Dr. Balay Kassahune okuva mu US President’s Malaria Initiative akubiriza abantu okwejjanjabisa obulungi era omaleyo doozi.

Buli mwaka April 25, Uganda yeegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okulwanyisa obulwadde bw’omusujja gw’ensiri nga n’omwaka guno, olutalo ku nsiri luviira ddala mu mayumba gaffe obutaganya nsiri kutuluma ng’omubala gw’omwaka guno bwe gugamba. Omusujja gw’ensiri gukyali kizibu kinene mu ggwanga, abantu 90 ku buli 100,000 be bafa okusinziira ku lipooti eya 2017 / 2018.

Gavumenti ekoze okugulwanyisa omuli okusomesa n’okusaasaanya obubaka obukwata ku musujja gw’ensiri okwetooloola eggwanga lyonna. Okugabira abantu obutimba obulimu eddagala eritta ensiri. Okufuuyira mu mayumba g’abantu n’eddagala eritta ensiri n’ebirala.

MALAWI EFUNYE EDDAGALA ERIGUGEMA

E Malawi baatongozza eddagala erigema omusujja gw’ensiri ebitundu 40 ku buli 100 nga lino lye lisoose okukkirizibwa mu nsi yonna era liyitibwa ‘Mosquirix’ mu kaweefube w’okulaba ng’omusujja gw’ensiri gufuuka lugero naddala mu Afrika.

Omukungu w’ekitongole eky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation (WHO), Tedros Adhanom Ghebreyesus yagambye nti, balabye enkyukakyuka nnene mu kukozesa obutimba bw’ensiri n’ebirala naye wakyetaagisaawo enkola endala okulaba nga tulwanyisa omusujja guno, era eddagala lino liwa essuubi okutuukawo.

Lisoose kukozesebwa mu kibuga ekikulu Lilongwe ekya Malawi, oluvannyuma lyakutwalibwa e Kenye n’e Ghana mu kiseera kitono ekijja.

Wabula lino terigema 100 ku 100, era lirina okwongerezebwako enkola endala ezimanyiddwa mu kutangira omusujja gw’ensiri. Lyakoleddwa aba British Pharmaceutical giant GlaxoSmithKline ng’eri wamu n’aba PATH Malaria Vaccine Initiative

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

King James emezze abanunuzi

King James emezze abanunuzi

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...