TOP
  • Home
  • Amawulire
  • abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kim2 703x422

Dr. Adam Kimala owa Kampala Hospital

WIIKI ewedde twawandiise ku kizibu ky’okuzaala kasowole (asoosa ebigere) oluvannyuma lw’omukyala eyalongoosebwa mu ddwaaliro e Naggulu okufiirwa omwana eyali asoosezza ebigere gw’agamba nti abasawo baamusala okwetooloola obulago, ekyamutta. Omwana okukyuka mu lubuto kye kimu ku bintu ebikakasa nti omwana oyo mulamu bulungi kuba kano kabeera kabonero akalaga nti azannya.

Mu bbanga ery’emyezi omwenda omwana ly’amala mu lubuto, abeera yeekyuusa okutuusa ng’ebulayo ennaku ntono azaalibwe olwo n’alyoka akka ng’asoosezza mutwe.

Ebiseera ebimu kino tekituukawo wabula omwana atuula mu lubuto oba okusoosa amagulu. Omwana azaalibwa mu ngeri bw’eti amanyiddwa nga ‘kasowole’. Abasawo abalala bongedde okunnyonnyola ku byetaagisa omukazi owa kasowole okusobola okuzaala obulungi.

EKIVAAKO OKUZAALA KASOWOLE Dr. Benedicto Mukwaya, okuva ku Mukwaya General Hospital, Kabalagala annyonyola nti, omwana bw’aba ali mu lubuto, omutwe gutera okubeera omunene ate omubiri ne guba mutono ekiyamba omwana okukyuka omutwe gusobole okusooka olwo n’ebitundu ebirala bisobole okukula.

Mu mbeera eno, ssinga omutwe gubeera mutono omwana ono ayinza okulemererwa okukyuka olwo n’alyoka yeefunyiza mu kifo kimu. Ekirala, ssinga olubuto lubeera lufunda, nga lulimu ebizimba, ng’olulira luwanvu ekisukkiridde oba ng’ekisawo omwana mw’akulira kifunda, omwana ono ayinza okulemererwa okukyuka olw’okuba nti abeera teyeegazaanya.

W’OMANYIRA NG’OLINA KASOWOLE dr. mukwaya agamba nti, omusawo omutendeke kimukakatako okukebera omukyala ow’olubuto buli lw’ajja mu ddwaaliro era ng’ono asobola okumanya nti omwana atudde butuuzi mu lubuto ssinga azuula ng’akabina akagonda ke kasoose. Oluvannyuma amusindika mu sikaani okuzuulira ddala ekituufu. Wabula osobola okulaba ng’omutwe guli waggulu era ng’olubuto luzimbidde waggulu sso ng’ekitundu ekyetooloovu kirina kubeera wansi.

Kino nno bw’obeera okizudde, ng’oyambibwako omusawo omutendeke, olagirwa ne weebakira oludda omwana lw’ataddeko omutwe n’asobola okukyuka n’azza omutwe wansi.

ENGERI KASOWOLE GY’AZAALIBWA

Dr. Adam Kimala okuva ku Kampala Hospital annyonnyola nti, abasawo bafuna okutendekebwa okw’enjawulo okusobola okuzaalisa omwana kasowole era nga kino kikolebwa musawo oyo yekka omukugu.

Mu kukola kino, agamba nti omusawo obeera n’obuvunaanyizibwa okutaasa ekiri munda ne maama, wabula ssinga omusawo alaba ng’omwana agenda kufa nga takyasobola oboolyawo olw’obukoowu oba okubeera omunene ng’akyayinza okuyuza nnabaana, basalawo okulongoosa maama.

Oluusi bombi bayinza okubeera abalamu era ng’omwana mutono bulungi ng’asobola okusindikibwa kyokka era ne bamulongoosa. Kinokiva ku kubeera ng’embeera y’omwana ono mbi nga talina kiseera kyakugumiikiriza ssaawa nnamba omuzaale ng’ajja kufiira mu ssanya.

Kino bakikola bamaze okukizuula nti w’onoozaalira omwana ono ng’amaze okufa. Dr. Paul Zirimala okuva ku Wakiso Health Centre IV ayongerako nti, mu kuzaalisa kasowole balina okukikola n’obwegendereza okukakasa ng’omwana ono tebamumenya mukono oba okugulu sso nga ssinga alwayo mu lubuto omukka guyinza okumuggwaako era n’afiirayo.

Kino kiri bwe kiti olw’ensonga nti, omwana bw’atuuka n’afulumya ebigere ebweru, munda mu lubuto abeera tassa, olwo n’atandika okusika ebizzi ebicaafu n’abinywa era nga bino annyonnyola nti babyeraliikirira okuyingira mu mawuggwe nga n’oluusi kiyinza okuvaako omwana okulemererwa okuvaayo obulungi.

Akkaatiriza nti, mu kuzaala kasowole, okulongoosa kwe kwandibadde kusinga olw’okutya omwana ono okunywa ebizzi bino kyokka olw’okuba nti abakyala bangi we bagendera ku ddwaaliro babeera batuuse okuzaala, abasinga babaleka ne bazaala mu nzaala eya bulijjo wabula nga babeegendereza ekisusse.

Ate Dr. Mukwaya agamba nti, ssinga omwana abeera n’obuzito obuli wakati wa kkiro 3 ne 4 ate nga n’amagumba g’omukyala magazi bulungi bamuzaalisa wadde nga bombi (maama n’omwana) babeera bakoowu.

Mu kukola kino, omusawo alina okubeera omwegendereza nti ssinga omwana oba maama akooyera mu kiseera ky’okusindika olwo abeera alina okukyusa n’amulongoosa okwewala okubafiirwa oba okufiirwako omu ku bo. Mu bakyala abazaala omulundi gwabwe ogusooka, Dr. Mukwaya agamba nti, batera okubalongoosa olw’okuba nti ebinywa by’olubuto bibeera tebinnata sso nga ssinga omwana ono abeera n’obuzito obusaanidde ate nga n’amagumba ga maama tegalina buzibu, omukyala oyo bamuwa omukisa okusindika omwana we.

EKIKOLEBWA KASOWOLE BW’AFIIRA MU LUBUTO

Mu kiseera ky’okuzaala kasowole, wabaawo omukisa gw’omwana ono okufiira mu lubuto olw’ensonga ezitali zimu, wabula ssinga kino kibeera kituuseewo, Dr. Kimala annyonnyola nti, olwo aba takyamukwatako ng’omusawo era essira lyonna balissa ku kutaasa maama.

Oluusi kino bakikola nga bateekako maama eccupa asobole okusindika omwana ono kubanga abeera tasobola kwesindika nga bwe gubeera ku mwana omulamu. Kyokka ssinga omwana aba munene, basalawo okumuggyayo mu bitundutundu era nga kino kikolebwa okutaasa maama kubanga abeera tasobola kufuluma era nga kiyinza okuvaako nnabaana okukosebwa.

KISOBOKA OKUKYUSA KASOWOLE

Ng’omwana tannakka, abasawo bwe bakizuula nti anaasoosa bigere, bamukyusa era nga kino bakikolera wakati w’emyezi 6 ne 7. Kino ssinga tekikolebwa mu bbanga lino, Dr. Kimala agamba nti kibeera kizibu okumukyusa kubanga gy’abeera asse abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere lulinga lubbo era nga lufunda wansi era nga tasobola kwekyusizaayo.

Mu kiseera kino, omwana ono abeera agezze nga takyayinza kwekyusa nga bwe gwandibadde nga tannaweza myezi 7. Dr. Zirimala agamba nti, wadde ng’abamu bakikola okukyusa omwana oluvannyuma lw’ebbanga ery’emyezi 7 nga n’abandi babakyusa batuuse okuzaalibwa, kino si kituufu era kyabulabe eri maama n’omwana.

Annyonyola nti, olw’okuba obeera tomanyi kwe kyava mwana oyo kulemererwa kukyuka, kibeera kisingako n’omuleka kubanga oyinza okwesanga ng’olulira lw’omwana 6lumpi ng’olumukyusa ojja kuleetera ekisawo okuta okuva ku maama ekitegeeza nti omwana ono abeera agenda kufiira mu lubuto sso nga n’emirundi emirala, maama ayinza okuvaamu omusaayi omuyitirivu n’akosebwa. Mu ngeri eno annyonnyola nti, kyandibadde kikulu maama okugenda mu ddwaaliro buli mwezi okutuusa lw’azaala wadde nga mu malwaliro agamu babagamba kugendayo emirundi 3 ku 4 mu kiseera ng’ali lubuto.

LWAKI ABAANA BANO BAYITIBWA BALONGO Dr. Adam Kimala annyonyola nti, omwana ow’ekika kino muzibu okuzaala era atta era olw’obuzibu obwo, yenkana abaana abakulira mu lubuto nga benkana obunene kye bava babayita nti balongo. Mu ngeri eno, omwana omu bw’azaalibwa nga kasowole, bamutwala nga mulongo era alanga abalongo mu kika oba famire eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana