TOP

Mubiri omunene akugobako endwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kp2 703x422

ENDWADDE ezitawaanya abantu zeeyongedde ensangi zino. N'ezaali zimanyiddwa mu bantu abakuze zitawaanya abaana ng'ekirina okukolebwa kunyiikira kukozesa ddagala lya kinnansi erituyamba okutangira endwadde. Evans Kigongo omutuuze w'e Mwera Busujju yagambye nti mubiri omunene ddagala ly'osobola okukozesa okwegobako endwadde eziwerako.

Bw'oba otawaanyizibwa ekigalanga noga mubiri omusajja ajja kukuyamba okutereera. Noga ebikoola obiyenge bigonde mu mazzi amayonjo. Oluvannyuma kenenulamu amazzi onywe ku makya n'olweggulo. Ojja kufuna enjawulo mu lunaku lumu.

Bw'oba tosobola kunywa ddagala ly'oyenze mu mikoola ebibisi ebikoola byonoze obiteeke mu seffuliya obifumbe biggye bulungi ng’otaddemu amazzi matono. Bwe byeseera okumala ebbanga biggye ku muliro olinde biwole onywe ekikopo ku makya n'olweggulo kijja kukolera bulungi ojja kulaba ng’oteredde.

Mu ngeri y'emu bw’ofumba mubiri ono kiyambako okutta obuwuka obuyinza okuba obwobulabe mu lubuto.

Ate ne bwe kiba nga si kigalanga olubuto nga lukuluma bulumi osobola okuyenga mubiri omunene onywe. Akola bulungi mu kukkakkanya obulumi. Omusujja gw’omu byenda nga gukulumbye osobola bulungi okweyambisa mubiri omunene.

Buli lw’omunywa naddala nga mufumbe ayamba okufulumya ebicaafu ebiba mu lubuto nga ne bwe guba musujja nga gukutawanya gufuluma notereera. Omusujja guno ne bwe guba tegunnakukwata mubiri omunene ayamba okugutangira okukulumba. Yenga onywe buli luvannyuma lwa mwezi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...