TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

By Musasi wa Bukedde

Added 25th April 2019

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Deb2 703x422

NGA mmotoka ezikwamidde awaka ne mu galagi olw’okussibwamu amatufa oba woyiro ebikyamu zeeyongera obungi buli lukya, minisitule evunaanyizibwa ku masannyalaze n’amafuta nga bali wamu n’ekitongole ky’omutindo ekya UNBS batongozza kaweefube w’okulabula ab’ebidduka ku mafuta amakyamu.

David Ebiru omumyuka w'akulira UNBS mu kutongoza kaweefube ono ku ssundiro ly’amafuta erya Shell ku Ben Kiwankua Street mu Kampala ku Lwokubiri yagambye nti amafuta amakyamu gakyatundibwa wadde nga bagezaako okukwata abagatabulamu ebintuntu ebirala. “Ffe ng’ekitongole ky’omutindo tukola kyonna ekisoboka okulaba ng’omutindo gw’amafuta nga tegannasala nsalo kuyingizibwa mu ggwanga nga gwe gwo ogutuukiridde.

Ate tugassaamu obulambe wadde ng’abamu bwe bagatuusa ku masundiro ate petulooli ne dizeero bagatabikamu amafuta g’ettaala aga ssente eza wansi n’ekigendererwa ky’amagoba amangi.

Bangi ku babadde beenyigira mu muze guno tubakutte oluvannyuma lw’okukebera obulambe obussibwa mu mafuta gonna nga busaabuluddwa. Eggwanga lyonna lirimu amasundiro agawera 2,800 agalina layisinsi agamu agatatuukaana na mutindo ssaako n’ago ageenyigira mu kutunda amafuta agatawera n’agatali ku mutindo gagenda kuggalwa.

Engeri gy’otegeera mmotoka essiddwaamu amafuta oba woyiro omukyamu; Peter Kitimbo avunaanyizibwa ku kulondoola omutindo gw’amafuta mu UNBS agamba buli mmotoka lw’enywa amafuta amakyamu terwawo kulaga bubonero omuli okufuuwa ekikka ekitali kya bulijjo. Okupipira kwa mmotoka, okuzikira buli kiseera, okubulwa amaanyi agalinnya obusozi oluusi okukuba emyasi emabega mu ekizoosi.

Mmotoka ezisinze okukosebwa amafuta amatabuletabyule zeezo okusinga ezaakolebwa okutandikira mu myaka gya 2005 okudda waggulu kuba zino zikozesa amasannyaze mangi okusinga kw’ezo enkola enkadde kuba zibadde zigagumidde okumala ekiseera.

Ebyuma ebisinga okukosebwa amafuta amakyamu Kitimbo agamba nti kompyuta bwe bulamu bwa mmotoka obusookerwako era yeesooka okukosebwa ’amafuta amakyamu buli bw’etabuka mmotoka eba yeefaanaanyiriza ku muntu agudde eddalu ng’esobola okukola buli muze .

Mmotoka ya dizero ekyuma ekipika amafuta akugabunya mu yingini (Injector pump) kikosebwa amafuta amakyamu nga kuno agaba gayingira mu yingini. Eshach Bululu, ssentebe w’ekibiina ekigatta abakola ssaaviiisi ku masunditro g’amafuta aga Shell agamba nti buli kika kya yingini kirina woyiro akigendamu era kino bwe kiba nga tekikoleddwa ebiddirira biba bibi.

Agamba nti buli kidduka lwe kiteekebwamu woyiro omukyamu n’ekiddirira kwe kukosa ebyuma bya dizero. Mmotoka ekika kya Toyota Hiace enkola empya eyakazibwako erya Drone buli Nozo ya 1,500,000/-nga mugendamu nnya.

Y’emu ku nsonga lwaki omuntu yandifuddeyo okumanya omutindo gw’amafuta oba woyiro gw’assa mu mmotoka. Aw’ekidduka kyalina okukola ku mafuta atatawera ssaako kw’otadde akasengejja amafuta eby’enjawulo naddala Nozo mu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...