TOP

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2019

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro

Kut2 703x422

Ssematimba ( wakati) ataddeko enkoofiira ng’annyonnyola bakulembeze banne aba KOTSA ebyamutuuseeko.

BAMBEGA ba ISO baamaze olunaku lulamba nga bakunya ssentebe wa baddereeva ba takisi mu kibiina kya KOTSA, Hajji Yasin Ssematimba oluvannyuma ne bamuyimbula kyokka ebyamutuseeko abinyumya nga lutabaalo.
 
Yagambye nti baamusibye ku njegere n’empingu ku mikono ne bamukunguzza mu ttumbi okumutwala mu kifo ekyekusifu kye yabadde tasobola kutegeera. Oluvannyuma obudde nga bukedde baamuggyeeyo mu kifo ekyo ne bamutwala n’asisinkana akulira ekitongole kya ISO, Kaka Bagyenda.
 
Bye yayogedde ne Bagyenda bingi yagaanyi okubyogera kyokka okumuyimbula yamaze kumwetondera ne yeeyama okwongera okukolagana obulungi n’ebitongole byokwerinda okukuuma omulimu gwa takisi nga baddereeva bagweyagaliramu.
 
EMISANGO Yagambye nti baamulumirizza okwenyigira mu kukuba n’okutema ssentebe wa siteegi y’e Bweyogerere, Eddie Ssebandeke, kye yeeganyi nti tasobola kukikola kubanga oyo mukwano gwe era bwe yakubwa ye yamuyamba okumutwala mu ddwaaliro era yabadde naye ku ofiisi.
 
Yagambye nti baamubuuzizza ku bubinja bw’abavubuka abamenyi b’amateeka obupangisibwa okutulugunya baddereeva kyokka ne yeegaana nti ye ssentebe atasobola kwenyigira mu kutulugunya dereeva yenna.
 
Ku kwetondera Kaka yagambye nti yakikoze ku lwa banne abayinza okuba nga beenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka naye teyakikoze ku lulwe kubanga tewali musango gwonna gwe yagguddwaako era teyakoze wadde siteetimenti nga bamuyimbula. Yagambye nti teyeeyimiriddwa wadde ng’avaayo wabula balina ebintu bye baamugambye okutegeeza banne naddala ababadde beenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka babikomye era tagenda kuttira mukulembeze yenna ku liiso.
 
OLUKIIKO Eggulo Ssematimba yakedde mu ofiisi n’atuuza olukiiko lwa bakulembeze banne n’abanyumiza byonna ebyamutuuseeko n’engeri gye yayimbuddwa. Yabagambye nti yeewuunyizza engeri bambega gye bamulinnya akagere ne bamutambulirako okuva mu Kampala okutuuka mu maka ge agasangibwa e Namagoma mu ggombolola y’e Nsangi.
 
Yabagambye nti abaserikale baali mukaaga ng’abamu batambulira ku pikipiki ate abalala mu mmotoka ya Mark II era baamubala ng’akkalidde bulungi awaka akutte omusaalo agenda kusaala ne bamukwata.
 
Baasooka kwebulungulula nnyumba ye ne bamugamba nti akulira ISO amwetaaga kyokka bye yali ayita ebyemirembe ate yagenda okulaba nga bamukaliga ku mpingu n’enjegere nga bamutwala mu kifo ky’atasobola kujjukira.
 
OBUNKENKE Yagambye nti wadde yayimbuddwa naye atambulira ku bunkenke olwabamenyi b’amateeka abangi abeerimbise mu mulimu gwa takisi ng’ebigendererwa byabwe tebaagala gutereere.
 
Yagambye nti ky’asinga okweraliikirira ekiseera kino be bagagga abaagula poloti okwetooloola ppaaka ya takisi enkadde abaagala okutandika okuzimba kyokka nga bo ng’aba KOTSA tebakkiriziganya nabo. “Abalabe baffe nnamba emu mu takisi era kwe nsonze kati, bagagga abaagula poloti. Baagala okuzimba kyokka ffe tetusobola kubakkiriza era ensonga twazitegeeza pulezidenti emivuyo gyonna egyakolebwa mu kugula poloti ezo,” Ssematimba bwe yagambye.
 
Yategeezezza nti bannaabwe aba UTRADA nabo tebaagala mulimu gwabwe kutereera kyokka abo tabatya kubanga bo baagala kutabula nzirukanya ya takisi ate ye agenderera kutereeza mulimu era ye alaba nti y’ali ku kituufu wadde Mustafa Mayambala owa UTRADA tabiraba.
 
Ku kulonda abakulembeze yategeezezza nti bo ekyo tebakiraba nga kizibu era ekiseera kino tewali bwetaavu bwa kulonda kubanga obukulembeze bwa takisi weebuli. Yagambye nti abantu abakola ku nteekateeka y’okulonda si beebavunaanyizibwa era bo tebasobola ku kwetabamu.
 
Ssentebe w’ekiwayi kya takisi ekya UTRADA, Mustafa Mayambala yagambye nti munne Yasin Ssematimba by’ayogera abantu babisengejje kubanga alina bingi by’asirikidde ate bambega bayogerako nti tebalina musango gwe baamugguddeko ye abamanyi ng’abakugu era bwe kiba kituufu teyeeyibaala.
 
Yagambye nti bo bazze bategeeza ebitongole eby’enjawulo embeera embi eri mu takisi nti baddereeva bakubwa, batulugunyizibwa n’okubonyaabonyezebwa naye nga tebayambibwa kyokka basanyukidde Kaka okutandikira ku ssentebe okunoonyereza. Yagambye nti bo tebatidde wadde bambega bagenda ku ludda lwabwe okunoonyereza babaaniriza. Yannyonnyodde nti bo bakyalemedde ku kulonda obukulembeze bwa takisi. “Oba abo batuufu lwaki tebakkiriza kulonda.
 
Baddereeva be bagamba nti babakulembera bulungi lwaki tebabakkiriza ne babalonda mu kifo ky’okutya okwetaba mu kulonda embeera y’obunkenke n’eggwaawo mu takisi” Mayambala bwe yagambye.
 
Ssenda wula bak yamulemedde Diriisa Ssendawula aba ISO bakyamulemedde tebannaba kumuyimbula era baalabudde nti bakyagenda mu maaso n’okukwata abalala be baagala okunoonyerezaako
 
Embeera mu baddereeva ncamufu ng’abamu bagamba nti ISO ky’ekoze kirungi okukola okunoonyereza ate abalala bagamba nti okukwata abakulembeze kiyinza okusannyalaza emirimu gyabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...